|
| 1 |
|
| Zuukuka, zuukuka, yambala amaanyi go, ggwe Sayuuni; yambala ebyambalo byo eby'obuyonjo, ggwe Yerusaalemi, ekibuga ekitukuvu: kubanga okuva leero temukyayingiranga mu ggwe nate atali mukomole n'atali mulongoofu. |
|
| 2 |
|
| Weekunkumule enfuufu; golokoka otuule wansi, ggwe Yerusaalemi: weesumulule enjegere ez'omu bulago bwo, ggwe omuwala wa Sayuuni eyanyagibwa. |
|
| 3 |
|
| Kubanga bw'atyo bw'ayogera Mukama nti Mwatundirwa bwereere; era mulinunulibwa awatali ffeeza. |
|
| 4 |
|
| Kubanga bw'atyo bw'ayogera Mukama Katonda nti Olubereberye abantu bange baaserengeta e Misiri okutuulayo: Omwasuli n'abajooga ng'abalanga bwereere. |
|
| 5 |
|
| Kale nno kaakano nkola ki wano, bw'ayogera Mukama, kubanga abantu bange baatwalirwa bwereere? abo ababafuga bawowoggana, bw'ayogera Mukama, n'erinnya lyange bazibya obudde bulijjo okulivuma. |
|
| 6 |
|
| Abantu bange kyebaliva bamanya erinnya lyange: kyebaliva bamanya ku lunaku luli nga nze nzuuyo ayogera; laba, nze nzuuno. |
|
| 7 |
|
| Nga birungi ku nsozi ebigere by'oyo aleeta ebigambo ebirungi, alanga emirembe, aleeta ebigambo ebirungi eby'obulungi, alanga obulokozi; agamba Sayuuni nti Katonda wo afuga! |
|
| 8 |
|
| Eddoboozi ly'abasajja bo abakuuma! bayimusa eddoboozi, bayimbira wamu; kubanga baliraba eriiso n'eriiso, Mukama bw'alikomawo e Sayuuni. |
|
| 9 |
|
| Mubaguke okusanyuka, muyimbire wamu, mmwe ebifo eby'e Yerusaalemi ebyazika: kubanga Mukama asanyusizza abantu be, anunudde Yerusaalemi. |
|
| 10 |
|
| Mukama afungizizza omukono gwe omutukuvu mu maaso g'amawanga gonna; n'enkomerero zonna ez'ensi ziriraba obulokozi bwa Katonda waffe. |
|
| 11 |
|
| Mugende, mugende, muve omwo, temukomanga ku kintu kyonna ekitali kirongoofu; muve wakati mu ye: mubeerenga balongoofu, mmwe abasitula ebintu bya Mukama. |
|
| 12 |
|
| Kubanga temulivaamu nga mwanguyiriza so temuligenda nga mudduka: kubanga Mukama alibakulembera; era Katonda wa Isiraeri ye alibasemba. |
|
| 13 |
|
| Laba, omuweereza wange alikola n'amagezi, aliyimusibwa alisitulibwa, era aligulumira nnyo, |
|
| 14 |
|
| Ng'abangi bwe baakwewuunya, (amaaso ge gaayonooneka bwe gatyo okusinga omuntu yenna, n'embala ye okusinga abaana b'abantu,) |
|
| 15 |
|
| bw'atyo bw'alimansira amawanga amangi; bakabaka balibuniza obumwa bwabwe gy'ali: kubanga kye batabuulirwanga balikiraba; ne kye batawuliranga balikitegeera. |
|
|
|
|