×

Luganda Bible 2003

Isaaya 52

1
Situka ggwe Siyooni, situka oddemu okuba ow'amaanyi. Ggwe Yerusaalemu Ekibuga Ekitukuvu, yambala ebyambalo byo eby'obuyonjo, kubanga tokyaddamu kuyingirwamu batalina ddiini, n'abatali balongoofu.
2
Situka Yerusaalemu ove mu nfuufu, ogyekunkumule, olyoke otuule. Weesumulule enjegere ezikuli mu bulago ggwe Ekibuga Siyooni ekyawambibwa.
3
Mukama agamba nti: “Mwatundibwa awatali asasudde ssente, era mulinunulibwa awatali ssente.”
4
Mukama Katonda era agamba nti: “Mu kusooka, abantu bange baagenda okubeerako e Misiri, Abassiriya ne babajoonyesa awatali nsonga.
5
Nze Mukama kyenva ŋŋamba nti: ‘Kale wano kiki kye nnaakola kaakano, nga ndaba abantu bange batwalirwa obwereere? Abo ababafuga beewaana, era olunaku lwonna tebalekaayo kunnyooma.
6
Kale abantu bange, balimmanya. Olwo balimanya nga Nze, ddala Nze Nzennyini, Nze njogedde.’ ”
7
Nga kisanyusa okulaba omubaka ng'afaabiina okuyita mu nsozi okuleeta amawulire amalungi, amawulire agalangirira emirembe, era ag'obulokozi n'obuwanguzi! Omubaka oyo agamba nti: “Katonda wammwe ye afuga.”
8
Abakuumi b'ekibuga kyammwe baleekaana, bayimusa amaloboozi nga bayimbira wamu; kubanga balabira ddala n'amaaso gaabwe Mukama bw'akomawo e Siyooni
9
Mmwe ebifo bya Yerusaalemu ebibadde bifuuse amatongo, nammwe mubaguke muyimbe, kubanga Mukama akubagizza abantu be, anunudde Yerusaalemu.
10
Mukama Katonda waffe alikozesa obuyinza bwe obutuukiridde n'alokola abantu be, ng'ensi yonna yeerolera!
11
Mugende, mugende, muve mu Babilooni. Temukwata ku kintu na kimu ekitali kirongoofu, mmwe abasitula ebikozesebwa mu Ssinzizo lya Mukama. Mugende nga muli balongoofu.
12
Temulivaayo nga mubuguutana wadde okugenda nga mugwirana; kubanga Mukama alibakulemberamu era ye omu Katonda wa Yisirayeli alibavaako emabega okubakuuma.
13
Mukama agamba nti: “Mulabe, Omuweereza wange, byonna by'akola alibikozesa magezi. Alituusibwa ku bukulu n'ekitiibwa, aligulumizibwa nnyo.
14
Ng'abangi bwe baamwewuunya ng'amaaso ge goonooneddwa okusinga ag'omulala yenna bwe gaali goonooneddwa, ng'afuuse muntu atakyafaananika,
15
bw'atyo bw'alyewuunyisa amawanga amangi: bakabaka balibulwa eky'okwogera ne basamaalirira, kubanga baliraba ne bategeera kye batabuulirwanga era kye batawuliranga.”
Luganda Bible 2003
Luganda DC Bible Society of Uganda, 2003.
:
Save Notes