|
| 1 |
|
| Zuukuka, zuukuka, oyambale amaanyi go, ggwe Sayuuni. Ggwe Yerusaalemi ekibuga ekitukuvu, teekako ebyambalo byo ebitemagana. Kubanga okuva leero mu miryango gyo temukyayingira mu atali mukomole n’atali mulongoofu. |
|
| 2 |
|
| Weekunkumuleko enfuufu, yimuka otuule ku ntebe ey’obwakabaka ggwe Yerusaalemi. Weesumulule enjegere mu bulago bwo, ggwe Omuwala wa Sayuuni eyanyagibwa. |
|
| 3 |
|
| Kubanga bw’ati bw’ayogera Mukama nti, “Mwatundibwa bwereere era mujja kununulibwa awatali kusasula nsimbi.” |
|
| 4 |
|
| Kubanga bw’ati bw’ayogera Mukama Ayinzabyonna nti, “Omulundi ogwasooka abantu bange baagenda e Misiri okusengayo, oluvannyuma, Omwasuli n’abajooga. |
|
| 5 |
|
| “Kaakano kiki ate kye ndaba wano? “Kubanga abantu bange baatwalirwa bwereere era abo ababafuga babasekerera,” bw’ayogera Mukama. “Erinnya lyange livvoolebwa olunaku lwonna. |
|
| 6 |
|
| Mu biseera ebijja abantu bange balimmanya. Olunaku lujja lwe balitegeera nga nze nakyogera. Weewaawo, Nze.” |
|
| 7 |
|
| Nga birungi ku nsozi ebigere by’oyo aleeta amawulire amalungi, alangirira emirembe, aleeta ebigambo ebirungi, alangirira obulokozi, agamba Sayuuni nti, “Katonda wo afuga.” |
|
| 8 |
|
| Wuliriza! Amaloboozi g’abakuumi bo gawulikika, gayimusiddwa. Bonna awamu bajaguza olw’essanyu. Kubanga okudda kwa Mukama mu Sayuuni balikulaba n’amaaso gaabwe. |
|
| 9 |
|
| Mubaguke okuyimba ennyimba ez’essanyu mwenna, mmwe ebifo bya Yerusaalemi ebyazika. Kubanga Mukama asanyusizza abantu be, anunudde Yerusaalemi. |
|
| 10 |
|
| Mukama aliraga omukono gwe omutukuvu eri amawanga gonna, bagulabe. Enkomerero z’ensi zonna ziriraba obulokozi bwa Katonda waffe. |
|
| 11 |
|
| Mugende, mugende muveewo awo. Temukwata ku kintu kyonna kitali kirongoofu. Mukifulumemu mubeere balongoofu mmwe abasitula ebyombo bya Mukama. |
|
| 12 |
|
| Naye temulivaamu nga mwanguyiriza so temuligenda nga mudduka; kubanga Mukama alibakulembera abasookeyo; Katonda wa Isirayiri y’alibakuuma. |
|
| 13 |
|
| Laba, omuweereza wange by’akola alibikozesa magezi, aliyimusibwa asitulibwe, era assibwemu nnyo ekitiibwa. |
|
| 14 |
|
| Ng’abaamulaba ne bennyamira bwe baali abangi, endabika ye ng’eyonoonese nnyo nga takyafaananika, era ng’eyonoonese evudde ku y’abantu, |
|
| 15 |
|
| bw’atyo bw’anawuniikiriza amawanga mangi; bakabaka balibunira ku lulwe; kubanga ekyo ekitababulirwanga balikiraba, era ekyo kye batawulirangako, balikitegeera. |
|
|
|
|