1
Mukama agamba nti: “Buli muntu alumwa ennyonta ajje awali amazzi anywe, nammwe abatalina nsimbi mujje mugule emmere mulye. Mujje mugule omwenge n'amata nga temuliiko kye musasula.
2
Lwaki okufulumya ssente ku ebyo ebitali mmere, n'okuteganira ebyo ebitayinza kubakkusa? Muwulirize bulungi bye ŋŋamba mulyenga ebirungi, musanyuke.
3
“Mutege amatu gammwe mujje gye ndi muwulire, mufune obulamu obujjuvu. Nze ndikola nammwe endagaano ey'olubeerera ey'okwagala kwange okunywevu kwe nayagalamu Dawudi.
4
Nayita mu ye okulaga ab'amawanga obuyinza bwange, nga mmufudde omukulembeze era omufuzi w'amawanga ow'oku ntikko.
5
Nammwe muliyita eggwanga lye mwali mutamanyi era nalyo eryali litabamanyi ne liddukira gye muli, ku lwange Mukama, Katonda wammwe, Omutuukirivu wa Yisirayeli, kubanga mbagulumizza mmwe.”
6
Mudde eri Mukama, ng'akyasangika, mumwegayirire, nga bw'akyali okumpi.
7
Omubi alekeyo empisa ze embi, n'omwonoonyi akyuse endowooza ye adde eri Mukama, Mukama anaamukwatirwa ekisa; adde eri Katonda waffe, kubanga wa kisa, era asonyiyira ddala nnyo.
8
Mukama agamba nti: “Ebirowoozo byange, tebiri ng'ebirowoozo byammwe; n'engeri zange, teziri ng'engeri zammwe.
9
Eggulu nga bwe liri waggulu ewala ennyo n'ensi, n'engeri zange bwe ziri bwe zityo ewala ennyo n'engeri zammwe; era n'ebirowoozo byange bwe biri bwe bityo ewala ennyo n'ebirowoozo byammwe.
10
“Ng'enkuba n'omuzira bwe bigwa okuva mu bbanga ne bitaddayo waggulu naye ne bifukirira ettaka, ne bimeza mu lya ebimera, ne bibala ebibala, ne biwa omulimi ensigo ey'okusiga n'emmere ey'okulya,
11
bwe kityo n'ekigambo kye njogera, bwe kinaabanga. Tekiddenga gye ndi nga kyereere, wabula kinaakolanga ebyo bye njagala, ne kituukiriza bye nkitumye okukola.
12
“Muliva mu Babilooni n'essanyu, mulitwalibwa n'emirembe okuvaayo. Ensozi n'obusozi birikoleeza oluyimba, n'emiti girikuba mu ngalo olw'essanyu.
13
Emisambya girimera awabadde emyeramannyo, n'emimwanyi giridda mu kifo ky'amatovu. Ekyo kiriba akabonero ak'olubeerera akalaga nti ekyo, Nze Mukama, Nze nkikoze.”
Luganda Bible 2003
Luganda DC Bible Society of Uganda, 2003.