×

BIBULIYA ENTUKUVU

Isaaya 55

1
Abayonta mwenna, mujje; mujje ku mazzi; nammwe abatalina ssente, mujje mugule, mulye! Mujje mugule evviini n'amata awatali ssente, awatali kusasula.
2
Lwaki ssente zammwe muzimalira mu bintu ebitali mmere, n'okutegana kwammwe ku bintu ebitakkusa? Mumpulirize bulungi, mulye ekirungi, n'omwoyo gwammwe gusanyukire ku masavu.
3
Muwunzike okutu kwammwe, mujje gye ndi, muwulire, omwoyo gwammwe gubeere mulamu. “Era nzija kukuba nammwe endagaano ey'olubeerera, ekisa kyange ku Dawudi.
4
Kubanga namufuula omujulirwa eri abantu, omukulembeze era omuluŋŋamya w'amawanga.
5
Laba, oliyita amawanga g'otamanyangako, n'amawanga agatakumanyangako galirinnimukira gy'oli olw'Omukama Katonda wo, Omutuukirivu wa Yisirayeli, kubanga yakugulumiza.”
6
Munoonye Omukama ng'akyasangika, mumukoowoole ng'akyali kumpi.
7
Omubi ave mu kkubo lye ebbi, n'omuntu omubi ave mu ndowooza ye. Adde eri Omukama, ajja kumusaasira; adde eri Katonda waffe, kubanga ajja kusonyiwa mu bungi.
8
“Kubanga ebirowoozo byange si bye birowoozo byammwe, n'amakubo gammwe si ge makubo gange,” Omukama bw'agamba.
9
“Anti eggulu nga bwe litumbidde ku nsi, n'amakubo gange bwe gasukkulumye ku gammwe, n'ebirowoozo byange ku birowoozo byammwe.
10
Anti ng'enkuba n'omuzira bwe biva ku ggulu ne bikka, ne bitaddayo nga tebinnyikizza ttaka, ne birireetera okubaza n'okumeza, ne liwa omusizi ensigo, n'emmere oyo alya,
11
n'ekigambo ekiva mu kamwa kange bwe kiriba: tekiridda gye ndi nga kikalu, wabula kirituukiriza kyonna kye ŋŋenderera, kiriraka mu nsonga ekinsindisizza.”
12
Kubanga mulifuluma mu ssanyu, ne mutwalibwa mu ddembe; ensozi n'obusozi birisaakaanya ennyimba mu maaso gammwe, n'emiti gyonna egy'ettale girikuba mu ngalo.
13
Mu kifo ky'ebisaka by'amaggwa sipulaasi y'alisituka; mu kifo ky'omwennyango, jjambula y'alikulawo; ekyo kiriweesa Omukama erinnya, ke kaliba akabonero ak'olubeerera akatalikutulwawo.
Luganda Bible
BIBULIYA ENTUKUVU SECOND EDITION The Bible Society of Uganda, 2018.
:
Gaabu Hantumya