Laba, oliyita eggwanga lye wali tomanyi, era eggwanga eryali terikumanyi liriddukira gy'oli, ku lwa Mukama Katonda wo ne ku lw'Omutukuvu wa Isiraeri; kubanga akugulumizizza.
Kuba enkuba nga bw'ekka n'omuzira okuva mu ggulu, ne bitaddayo, naye ne bifukirira ettaka, ne birimeza ne biribaza, ne biwa omusizi ensigo n'omuli eby'okulya;
Mu kifo ky'omweramannyo mulimera olusambya, ne mu kifo ky'omutovu mulimera omumwanyi; ekyo kiribaawo erinnya lya Mukama limanyibwe, akabonero akataliggwaawo akataliggibwawo.”