1
Mukama agamba nti: “Mukolenga eby'obwenkanya era ebituufu, kubanga nnaatera okubanunula, ndage nga bwe ndi omutuukirivu.
2
Ndiwa omukisa abakuuma Sabbaato bulijjo, ne batagikolerako mirimu. Ndiwa omukisa abo abeekuuma ne batakola bibi.”
3
Omugwira eyasenga mu bantu ba Mukama, tagambanga nti: “Ddala Mukama ansosola mu bantu be.” N'omulaawe tagambanga nti: “Nze ndi ng'omuti omukalu!”
4
Kubanga Mukama agamba nti: “Abalaawe abakuuma Sabbaato zange, abalondawo okukola bye nsiima, ne banywerera ku ndagaano yange,
5
abo ndiwa amannya gaabwe okujjukirwanga mu Ssinzizo lyange ne mu bantu bange, ebbanga eggwanvu okusinga lwe bandibadde bazadde abaana ab'obulenzi n'ab'obuwala. Tebalyerabirwa.”
6
Abagwira abo abaasenga mu bantu ba Mukama, abamwagala, abamuweereza, abakuuma Sabbaato ze, era abassaayo omwoyo okukuuma endagaano ye, Mukama abagamba nti:
7
“Ndibatuusa ku Lusozi lwange olutukuvu, ne mbawa essanyu mu nnyumba yange ey'okusinzizaamu. Ebyabwe ebiweebwayo ebyokebwa, n'ebitambiro bye baleese, ndibikkiriza ku alutaari yange, kubanga ennyumba yange eneeyitibwanga ennyumba ab'amawanga gonna mwe bajja okunsinziza.”
8
Mukama Afugabyonna, era akuŋŋaanya abantu ba Yisirayeli abaawaŋŋangusibwa, agamba nti: “Ndimukuŋŋaanyizaayo n'abalala, ne beeyongera ku babe abaakuŋŋaanyizibwa.”
9
Mukama agamba nti: “Mmwe mwenna ebisolo eby'omu ttale n'eby'omu kibira, mujje mulye!
10
Abakulembeze b'abantu bange, bamuzibe. Bonna tebaliiko kye bamanyi, bonna bali ng'embwa ensirusiru ezitayinza kuboggola. Bonna bagalamira ne baloota, ne badda awo mu kubongoota.
11
Bali ng'embwa ez'omululu, ezitakkuta ennaku zonna. Bonna beemalidde ku byabwe: buli omu ku bo yeenoonyeza bya kwefuniramu magoba.
12
Omu agamba banne nti: ‘Mujje, ka nkimeyo ku mwenge, tunywe, twekamirire ebitamiiza. Olwenkya nalwo lunaaba ng'olwaleero, era n'okulusinga!’ ”
Luganda Bible 2003
Luganda DC Bible Society of Uganda, 2003.