1
Omukama kino ky'agamba: “Mukuume obutuufu, mukole ebikolwa eby'obutuukirivu, kubanga okulokola kwange kuli kumpi n'obutuufu bwange buli kumpi okwolekebwa.
2
Omuntu akola kino yeesiimye, n'omwana w'omuntu akikwata, akuuma Sabbaato n'atagyonoona, atangira omukono gwe okukola ekibi.”
3
Omugwira anyweredde ku Mukama aleme kugamba nti: “Omukama ddala agenda kunjawula ku bantu be,” n'omulaawo aleme kugamba nti: “Nzuuno ndi muti mukalu!”
4
Kubanga Omukama kino ky'agamba: “Abalaawo abakuuma Sabbaato yange ne balondawo ebinsanyusa, ne banywerera ku ndagaano yange,
5
mu nnyumba yange ne mu bigo byange ndibawaamu ekijjukizo n'erinnya erisinga batabani bange ne bawala bange; ndibawa erinnya ery'olubeerera eritagenda kukutulwako.
6
Abagwira abanyweredde ku Mukama okumuweereza, okwagala erinnya ly'Omukama, okubeera abaweereza be, bonna abakwata Sabbaato ne batagyonoona, ne banywerera ddala ku ndagaano yange,
7
ndibatwala ku lusozi lwange olutukuvu, ne mbasanyusiza mu nnyumba yange ey'okwegayiririramu; ebitambiro byabwe ebyokye n'ebyonziira byabwe birikkirizibwa ku mwaliiro gwange; kubanga ennyumba yange eneeyitibwanga nnyumba ya kwegayiririramu eri amawanga gonna.”
8
Omukama Katonda, akuŋŋaanya abawaŋŋangusibwa ba Yisirayeli, gamba nti: “Ndibakuŋŋaanyizaako n'abalala, abatali abo abaakuŋŋaanyizibwa edda.”
9
Mmwe mwenna ebisolo eby'ettale, mujje mukavvule, mmwe mwenna ebisolo by'omu kibira.
10
Abakuumi be bazibe b'amaaso, bonna tebategeera: bonna mbwa nkolya, ezitasobola kuboggola, beebakiriza, baloota, banyumirwa kwebaka bwebasi;
11
mbwa ez'amaddu amangi ezitakkuta, basumba tebategeera kimala; bonna beekwatidde makubo gaabwe, buli muntu okutuusa ku asembayo beenoonyeza bya kufuna.
12
Bagamba nti: “Mujje, nzija kufuna evviini! Mugire tunywe omwenge tweggweere! N'olw'enkya lunaaba ng'olwa leero, kabekasinge n'okusingawo obulungi.”
Luganda Bible
BIBULIYA ENTUKUVU SECOND EDITION The Bible Society of Uganda, 2018.