1
Bw'atyo bw'ayogera Mukama nti, “Mukole eby'amazima era mukolenga eby'obutuukirivu, kubanga obulokozi bwange bunaatera okujja, n'obutuukirivu bwange bunaatera okubikkulibwa.
2
Alina omukisa omuntu akola ekyo, n'omwana w'omuntu akinyweza; akwata Ssabbiiti obutagyonoona, n'akuuma omukono gwe obutakola bubi bwonna.”
3
So ne munnaggwanga eyeegatta ne Mukama tayogeranga nti, “Mukama talirema kunjawula n'abantu be,” so n'omulaawe tayogeranga nti, “Laba, ndi muti mukalu.”
4
Kubanga bw'atyo bw'ayogera Mukama nti, “ Eri abalaawe abakwata Ssabbiiti zange, ne beeroboza ebyo bye nsanyukira, ne banyweza endagaano yange.
5
Nti: Abo be ndiwa ekijjukizo n'erinnya erisinga ery'abaana ab'obulenzi n'ab'obuwala mu nnyumba yange mu bisenge byamu, ndibawa erinnya eritaliggwaawo eritaliggibwawo.
6
Era ne bannamawanga abeegatta ne Mukama, okumuweerezanga, n'okwagalanga erinnya lya Mukama, okuba abaddu be, buli muntu akwata Ssabbiiti obutagyonoona, n'anyweza endagaano yange;
7
abo ndibaleeta ku lusozi lwange olutukuvu, ne mbasanyusa mu nnyumba yange ey'okusabirangamu; ebyabwe ebiweebwayo ebyokebwa ne ssaddaaka zaabwe birikkirizibwa ku kyoto kyange: kubanga ennyumba yange eneeyitibwanga nnyumba ya kusabirangamu eri amawanga gonna.
8
Mukama Katonda akuŋŋaanya aba Isiraeri abaagobebwa ayogera nti, Oliba olyawo ne mmukuŋŋaanyiza n'abalala, obutassaako babe abakuŋŋaanyizibbwa.”
9
Mmwe mwenna ensolo ez'omu nsiko, mujje okulya, mmwe mwenna ensolo ez'omu kibira.
10
Abakuumi be bazibe b'amaaso, bonna tebalina kumanya; bonna mbwa nsirusiru, tebayinza kuboggola; baloota, nga bagalamira, baagala okubongoota.
11
Weewaawo, embwa za mululu, teziyinza kukkuta ennaku zonna; ne bano basumba abatayinza kutegeera; bonna bakyamidde mu kkubo lyabwe bo, buli muntu eri amagoba ge, okuva mu njuyi zonna.
12
Boogera nti, “Mujje, nnaakima omwenge, ne twekamirira ekitamiiza; n'olw'enkya luliba ng'olwa leero, olukulu olutenkanika.”
Luganda Bible LBR
Bible Society of Uganda.