×

Luganda Bible 2003

Isaaya 57

1
Omuntu omulungi afa ne wabulawo akissaako omwoyo. Abantu ab'ekisa baggyibwawo ne wataba akitegeera, ng'ab'ekisa abo bawonyezeddwa akabi akagenda okujja.
2
Abo abaali abalungi mu bulamu bwe bafa, bayingira mu mirembe, ne bawummula we bagalamidde.
3
Naye mmwe abalogo, mmwe abenzi ne bamalaaya, mujje wano musalirwe omusango.
4
Muzannyira ku ani? Ani gwe mwasamiza akamwa ne mwogera ebimusoomoza? Mmwe aboonoonyi era abajjudde obukuusa!
5
Mulina amaddu ag'okusinza ebifaananyi wansi wa buli muti, era muttira abaana bammwe mu biwonvu wansi w'enjatika z'enjazi.
6
Muggyayo amayinja amaweweevu ne mugasinza nga balubaale. Mugafukira ekiweebwayo eky'ebyokunywa era ne mugaleetera ebiweebwayo eby'emmere ey'empeke. Muyinza okukola ebyo ne nsanyuka?
7
Mwateeka ebitanda byammwe ku nsozi empanvu engulumivu, era eyo gye mwambuka okuwaayo ebitambiro.
8
Mukukulira emabega w'enzigi zammwe ebifaananyi ebyenyinyalwa. Mundeka awo, ne mweyambulira omulala atali nze, ne mulinnya naye ekitanda ekigazi, ne mumusasula okwebaka nammwe, ne mumatiza amaddu gammwe.
9
Mwesiiga omuzigo n'ebyobuwoowo bingi, ne mugenda okusinza lubaale Moleki. Okuzuula balubaale be munaasinza, mutuma ewala ababaka, ne bakkirira n'emagombe.
10
Mufuba ne mutegana okunoonyaayo balubaale abalala, era temuterebuka. Mulowooza ng'ebifaananyi ebyenyinyalwa bibawa amaanyi, n'olwekyo temukoowa.
11
Mukama agamba nti: “Balubaale ki abo be mutya bwe mutyo, Nze ne munnimba era ne munneerabirira ddala? Mulekedde awo okunzisaamu ekitiibwa, olw'okuba nga nasirika busirisi ebbanga lyonna?
12
Muyinza okulowooza nga bye mukola bituufu era birungi, naye ndyerula empisa zammwe, era ebifaananyi ebyo bye mukoze, tebiribagasa mmwe.
13
Bwe mukaaba nga musaba obuyambi, kale ebyo bye mwakuŋŋaanya, bye biba bibawonya. Naye empewo obuwewo eribiggyawo byonna. Kyokka abo abeesiga Nze, ensi be baligibaamu, era be banansinzizanga ku Lusozi Olutukuvu.”
14
Mukama agamba nti: “Mukoleewo ekkubo, mukoleewo ekkubo, mulitereeze. Muggyeewo enkonge mu kkubo ly'abantu bange.
15
“Nze nsukkiridde byonna, era ow'olubeerera, Omutuukirivu. Mbeera mu kifo ekyawaggulu era ekitukuvu. Kyokka era mbeera ne mu bantu abeetoowaze era ababoneredde, ndyoke mbazzeemu omutima n'essuubi.
16
Nawa abantu bange obulamu, era siribavunaana lugenderezo wadde okubasunguwalira emirembe gyonna, kubanga olwo abantu bange bandifudde, ate Nze Nzennyini be nawa obulamu.
17
Nabasunguwalira olw'ebibi byabwe n'olw'omululu gwabwe, ne mbabonereza era ne mbaabulira. Naye ne beeyongera kugenda mu maaso, ne bagugubira mu nneeyisa yaabwe.
18
“Ndabye nga bwe bayisa, naye nja kubawonya. Nja kubakulembera, mbaluŋŋamye, mbudeebude abo abakaaba.
19
Nze Mukama ŋŋamba nti Nze mpa bonna emirembe, abali okumpi n'abali ewala. Nja kuwonya abantu bange.
20
Naye abantu ababi bali ng'ennyanja esiikuuka, eteyinza kuteeka. Amayengo gaayo gasiikuula ebitosi n'ebisasiro.
21
Aboonoonyi tebaba na mirembe.” Katonda wange bw'atyo bw'agamba.
Luganda Bible 2003
Luganda DC Bible Society of Uganda, 2003.
:
Save Notes