1
Muleme kulowooza nga Mukama ye munafu alemeddwa okubanunula, oba nti Mukama kiggala nga tayinza kubawulira.
2
Naye ebibi byammwe bye bibaawula ku Katonda wammwe, n'abeekweka, n'atayagala kubawulira.
3
Mwogera eby'obulimba, n'ebikolwa byammwe bijjudde obukambwe n'obutemu.
4
Tewali awaaba oba awoza bituufu era eby'amazima, naye mwesigama ku bikyamu era mwogera bya bulimba. Mutegeka bya ttima, ne bivaamu akabi.
5
Enkwe ze mukola ziba za kabi ng'amagi g'omusota ogw'obusagwa. Eggi ly'oyasa livaamu musota, era alya ku ggi ng'eryo afa bufi. Ebikolwa byammwe biri nga kuluka ngoye mu lutimbe lwa nnabbubi.
6
Naye enkwe ezo teziribaviiramu kalungi. Ziriba ng'olugoye olukoleddwa mu wuzi za nnabbubi, teluliiko kye lugasa.
7
Mwanguwa okukola ebibi, era temulwawo okubituukiriza. Temusibaamu okutemula abataliiko musango. Buli we muyita muleka muzisizzaawo, era nga muzikirizzaawo. Bulijjo mulowooza kukola bibi.
8
Temumanyi kiyitibwa mirembe, era bye mukola tebibaamu mazima. Mwekubidde amakubo amakyamu, era buli agayitamu taba mirembe.
9
Abantu ne bagamba nti: “Ekyo kye kitugaana okuba n'amazima era n'obwenkanya. Tulinda ekitangaala ne tufuna kizikiza era ne tutambulira mu kifu.
10
Tuwammanta ku bisenge nga bamuzibe. Twesittala mu ttuntu ng'ekiro, ne tuba ng'abali mu nsi y'emagombe.
11
“Ffenna tuwuluguma ng'eddubu, ne tuwuubaala nnyo nga bukaamukuukulu. Twegomba Katonda okutuwonya okunyigirizibwa, kyokka tewali kikolebwa; twegomba okununulibwa, kyokka kutwesamba.
12
“Ayi Mukama, okusobya kwaffe kweyongedde mu maaso go, era ebibi byaffe bitulumiriza. Naffe ffennyini tulaba okusobya kwaffe, n'ebibi byaffe byonna tubimanyi.
13
Tukujeemera ne tukuvaako ggwe Mukama, ne tugaana okukugoberera ggwe Katonda waffe. Twajoonyesa abalala, ne tukujeemera. Ebirowoozo byaffe bikyamu, n'ebigambo bye twogera bya bulimba.
14
Tuggyawo obwenkanya, n'ebituufu ne bitubeera wala. Amazima tegasangibwa mu nguudo, n'obwesimbu tebuliiwo.
15
Amazima gakendedde mu bantu, era oyo alekayo okukola ebibi atuusibwako emitawaana.” Mukama yalaba ekyo, n'anyiiga, olw'obutabaawo bwenkanya.
16
Yeewuunya okulaba nga tewali muntu n'omu awolereza abanyigirizibwa. N'olwekyo ye yennyini ajja kukozesa obuyinza bwe okujuna abantu be, n'okubatuusa ku buwanguzi.
17
Ajja kwambala obwenkanya ng'ekyambalo eky'ekyuma kye bambala mu kifuba, atikkire ku mutwe gwe enkuufiira ey'obuwanguzi. Ajja kwambala okwagala ennyo okutereeza ebintu byonna, n'okubonereza, era n'okuwoolera eggwanga olw'ebikyamu byonna ebyakolebwa ku bantu be.
18
Alibonereza abalabe be ng'asinziira ku bye baakola, ng'atwaliramu n'abo abali ewala.
19
Okuva ebuvanjuba okutuuka ebugwanjuba balimutya era balitya obuyinza bwe. Alijja ng'omugga ogukulukuta n'amaanyi, ogutwalibwa embuyaga ye yennyini Mukama gy'asindika.
20
Mukama agamba abantu be nti: “Ndijja e Siyooni okununula aba Yakobo abakyuka okuva mu bibi byabwe.
21
Ndikola nammwe endagaano. Ntaddewo obuyinza bwange n'ebyo bye njigiriza, bibeerenga nammwe olubeerera. Era okuva kati munaabuuliranga era munaayigirizanga abaana bammwe ne bazzukulu bammwe okumpuliranga emirembe gyonna.”
Luganda Bible 2003
Luganda DC Bible Society of Uganda, 2003.