Olufulube lw'eŋŋamira lulikubikkako, eŋŋamira eze Midiyaani ne Efa; bonna balijja nga bava e Seeba; balireeta ezaabu n'omugavu ne balanga amatendo ga Mukama.
Era bannamawanga balizimba enkomera zo ne bakabaka baabwe balikuweereza: kubanga nnakukuba nga nkwatiddwa busungu, naye nkusaasidde nga nkwatiddwa kisa.
Era n'enzigi zo zinaabanga si nzigale bulijjo; teziggalwengawo misana n'ekiro; abantu bakuleeterenga obugagga obw'amawanga ne bakabaka baabwe nga bawambe.
N'okuyonka oliyonka amata ag'amawanga, era oliyonka amabeere ga bakabaka; era olimanya nga nze Mukama ndi mulokozi wo era mununuzi wo, Ow'amaanyi owa Yakobo.
Mu kifo ky'ekikomo ndireeta zaabu ne mu kifo ky'ekyuma ndireeta ffeeza, ne mu kifo ky'omuti ndireeta kikomo, ne mu kifo ky'amayinja ndireeta kyuma; era ndifuula abaami bo okuba emirembe n'abakusolooza okuba obutuukirivu.
Enjuba si yeeneebanga nate omusana gwo emisana; so n'omwezi si gwe gunaakwakiranga olw'okumasamasa; naye Mukama ye anaabeeranga gy'oli omusana ogutaliggwaawo, era Katonda wo ye anaabanga ekitiibwa kyo.