1
Mukama Afugabyonna anzijuzizza Mwoyo we kubanga Mukama annonze, n'antuma okubuulira abaavu amawulire amalungi. Antumye okujjanjaba abakoseddwa mu mutima, okubuulira abawambiddwa, nti bajja kuteebwa, n'abasibiddwa nti bajja kusumululirwa ddala.
2
Antumye okulangirira nti ekiseera kituuse Mukama akwatirwe abantu be ekisa, era awangule abalabe baabwe. Antumye okubudaabuda bonna abanakuwadde.
3
Abo abanakuwadde mu Siyooni, antumye okubateerawo n'okubawa engule mu kifo ky'evvu lye beeyiiridde, n'okusanyuka mu kifo ky'okunakuwala, n'oluyimba olw'okutendereza mu kifo ky'okukungubaga, balyoke babe ng'emiti Mukama yennyini gye yasimba, bakolenga ebituufu, Mukama alyoke aweebwe ekitiibwa.
4
Balizimba buggya ebibuga eby'edda ebyayonooneka, balizzaawo ebyali bifuuse amatongo. Baliddaabiriza ebibuga ebyayonoonebwa ne bimala emyaka n'emyaka nga birekeddwa awo ttayo.
5
Abagwira be banaaweerezanga mmwe abantu bange, be banaalundanga amagana gammwe. Be banaabalimiranga, era be banaalabiriranga emizabbibu gyammwe.
6
Naye mmwe munaayitibwanga bakabona ba Mukama. Abantu banaabayitanga baweereza ba Katonda waffe. Mmwe munaakozesanga ebyobugagga bw'amawanga, mubyeyagalirengamu.
7
Ebyammwe bikomye eby'okukwatibwa ensonyi n'okuswazibwa. Munaaberanga mu nsi yammwe, obugagga bwammwe ne bweyongerako emirundi ebiri, essanyu lyammwe ne liba lya lubeerera.
8
Mukama agamba nti: “Nze njagala bwenkanya, ne nkyawa okunyaga n'okukola ebibi. Ndiwa abantu bange empeera yaabwe mu bwenkanya, era ndikola nabo endagaano ey'olubeerera.
9
Baliba battutumu mu mawanga. Buli muntu abalaba alimanya nga be bantu, Nze Mukama, be mpadde omukisa.”
10
Ekibuga Yerusaalemu kigamba nti: “Nnaasanyuka nnyo olwa Mukama ne njaganya olwa Katonda wange, kubanga annyambazizza ekyambalo eky'obulokozi, ambisseeko omunagiro ogw'obutuukirivu. Neetikkidde engule ng'oyo awasizza omugole, era ndi ng'omugole anyumidde mu byambalo bye eby'obugole.”
11
Ng'ettaka bwe limeza ebimera, era ng'ennimiro bw'ekuza ebigisigiddwamu, bw'atyo ne Mukama Afugabyonna bw'alinunula abantu be, ne bafuna ekitiibwa mu maaso g'amawanga gonna.
Luganda Bible 2003
Luganda DC Bible Society of Uganda, 2003.