×

Luganda Bible

Isaaya 64

1
Singa oyuzizza eggulu, singa osse ensozi ne zikulukuta olw'okujja kwo;
2
ng'omuliro bwe gukwata ebisaka, ng'omuliro bwe gweseza amazzi: okutegeeza abalabe bo erinnya lyo, amawanga gakankanire okujja kwo!
3
Bwe wakola eby'entiisa bye tutasuubiranga, wakka, ensozi ne zikulukuta olw'okujja wo.
4
Kubanga obw'edda abantu tebaawuliranga so n'okutu tekubategeezanga so n'eriiso terirabanga Katonda wabula ggwe akolera omulimu oyo amulindirira.
5
Osisinkana n'oyo asanyuka n'akola eby'obutuukirivu, abo abakujjukira mu makubo go: laba, wasunguwala naffe ne twonoona: obw'edda twabeeranga mu ebyo, n'okulokoka tulirokoka?
6
Kubanga fenna tufuuse ng'atali mulongoofu, n'ebikolwa byaffe byonna eby'obutuukirivu biriŋŋanga ekyambalo ekikongedde: era fenna tuwotoka ng'olulagala; n'obutali butuukirivu bwaffe bututwalira ddala ng'empewo.
7
So tewali asaba linnya lyo, eyeekakaabiriza okukukwatako: kubanga otukisizza amaaso go n'otumalawo olw'obutali butuukirivu bwaffe.
8
Naye kaakano, ai Mukama, ggwe kitaffe; ffe tuli bbumba, naawe mubumbi waffe; naffe fenna tuli mulimu gwa mukono gwo.
9
Tosunguwala nnyo nnyini, ai Mukama, so tojjukira butali butuukirivu ennaku zonna: laba, tunula, tukwegayiridde, ffe fenna tuli bantu bo.
10
Ebibuga byo ebitukuvu bifuuse ddungu, Sayuuni kifuuse ddungu, Yerusaalemi matongo.
11
Ennyumba yaffe entukuvu ennungi, bajjajjaffe mwe baakutendererezanga, eyokeddwa omuliro; n'ebintu byaffe byonna eby'okwesiima bifaafaaganye.
12
Olizibiikiriza ebyo nga bimaze okubaawo, ai Mukama olisirika n'otubonyaabonya nnyo nnyini?
Luganda Bible
Luganda Bible 1968 Edition United Bible Societies 1968, and British and Foreign Bible Society, London, England, 1954, 1967, 1972, 1994 and The Bible Society of Uganda, 2013
:
Save Notes