Luganda Bible 2003
|
| 1 |
| Ha! Singa nno oyasizza eggulu n'okka, ensozi zandikankanye mu maaso go, |
| 2 |
| ng'omuliro bwe gukwata ebisaka, era nga bwe gweseza amazzi. Jjangu olage abalabe bo obuyinza bwo, amawanga gakankane mu maaso go. |
| 3 |
| Bwe wakola eby'entiisa bye twali tutasuubira, wakka, ensozi ne zikankana mu maaso go. |
| 4 |
| Okuva edda n'edda, abantu tebawulirangayo era tebalabangayo wadde okutegeerayo Katonda omulala, wabula Ggwe akolera ebyamagero abo abasuubira mu Ggwe. |
| 5 |
| Osanyukira abo abasanyuka okukola by'oyagala, abo abajjukira bw'oyagala bayisenga. Ffe watusunguwalira, naye ne twongera bwongezi okukola ebibi. Twasigala mu ebyo okuva edda. Kale ebyo tulibiwona? |
| 6 |
| Ffenna tufuuse abatali balongoofu, n'ebikolwa byaffe byonna ebirungi, biri ng'ekyambalo ekikongedde ekko. Ffenna tuli ng'ebikoola ebiwotose, olw'ebibi byaffe, era tutwalibwa embuyaga. |
| 7 |
| Tewali ajja gy'oli okukwegayirira, tewali yeeyuna gy'oli omuyambe. Otwekwese, era otumazeewo olw'ebibi byaffe. |
| 8 |
| Naye ayi Mukama, Ggwe Kitaffe. Ffe tuli bbumba, Ggwe mubumbi waffe, era ffe ffenna Ggwe watutonda. |
| 9 |
| Kale totusunguwalira kiyitiridde, ayi Mukama, wadde okutuvunaana ebibi byaffe ennaku zonna. Ffenna nga bw'otulaba, tuli bantu bo. |
| 10 |
| Ebibuga byo ebitukuvu bifuuse ddungu: Siyooni ddungu, Yerusaalemu matongo! |
| 11 |
| Essinzizo lyo ettukuvu eddungi bajjajjaffe mwe baakutendererezanga, lyokeddwa omuliro, n'ebifo byaffe byonna ebisanyusa, bifaafaaganye. |
| 12 |
| Ayi Mukama, tolina ky'ofaayo ebyo byonna nga bimaze okubaawo? Onoosirika busirisi, n'otuleka tuboneebone nnyo nnyini? |
| Save Notes |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/luganda2003/isaiah/064.mp3
66
64