|
| 1 |
|
| Mbuuzibwako abo abatambuuzaagako; ndabiddwa abo abatannoonyanga: nagamba nti Ndaba, ndaba, eri eggwanga eritatuumibwanga linnya lyange. |
|
| 2 |
|
| Ngololedde emikono gyange okuzibya obudde abantu abajeemu abatambulira mu kkubo eritali ddungi, okugoberera ebirowoozo byabwe bo; |
|
| 3 |
|
| abantu abansunguwaza mu maaso gange olutata, nga basalira ssaddaaka mu nsuku, era nga bootereza obubaane ku matoffaali; |
|
| 4 |
|
| abatuula mu malaalo, abasula mu bifo eby'ekyama; abalya ennyama y'embizzi n'amazzi ag'emizizo gali mu bibya byabwe; |
|
| 5 |
|
| aboogera nti Yimirira wekka, tonsemberera nze kubanga nze nkusinga obutukuvu: abo gwe mukka mu nnyindo yange, omuliro ogwaka okuzibya obudde. |
|
| 6 |
|
| Laba, kiwandiikiddwa mu maaso gange: sirisirika, naye ndisasula, weewaawo, ndisasula mu kifuba kyabwe |
|
| 7 |
|
| obutali butuukirivu bwammwe mmwe n'obutali butuukirivu bwa bajjajjammwe wamu, bw'ayogera Mukama, abaayoterezanga obubaane ku asozi ne banzivoolera ku busozi: kyendiva nsooka okugera omulimu gwabwe mu kifuba kyabwe. |
|
| 8 |
|
| Bw'ati bw'ayogera Mukama nti Ng'omwenge omusu bwe gulabikira mu kirimba, ne wabaawo eyogera nti Tokizikiriza kubanga mulimu omukisa: bwe ntyo bwe ndikola ku lw'abaddu bange nneme okubazikiriza bonna. |
|
| 9 |
|
| Era ndiggya ezzadde mu Yakobo ne mu Yuda ndiggyamu alisikira ensozi zange: n'abalonde bange baligisikira n'abaddu bange balituula omwo. |
|
| 10 |
|
| Awo Saloni kiriba kisibo kya ndiga, n'ekiwonvu kya Akoli kiriba kifo ente we zigalamira, olw'abantu bange abannoonyezza. |
|
| 11 |
|
| Naye mmwe abaleka Mukama, abeerabira olusozi lwange olutukuvu, abategekera Mukisa emmeeza, abajjuliza Kuteekawo omwenge omutabule; |
|
| 12 |
|
| nze ndibateekerawo ekitala, nammwe mwenna mulikutama okuttibwa: kubanga bwe nnayita temwayitaba; bwe nnayogera temwawulira; naye ne mukola ekyali ekibi mu maaso gange ne mulonda ekyo kye ssaasanyukira. |
|
| 13 |
|
| Kyava ayogera bw'ati Mukama Katonda nti Laba, abaddu bange balirya, naye mmwe mulirumwa njala: laba, abaddu bange balinywa, naye mmwe mulirumwa nnyonta: laba, abaddu bange balisanyuka, naye mmwe muliswala: |
|
| 14 |
|
| laba, abaddu bange baliyimba omutima gwabwe nga gusanyuse, naye mmwe mulikaaba omutima gwammwe nga gunakuwadde ne muwowoggana omwoyo gwammwe nga gulumiddwa. |
|
| 15 |
|
| Era mulirekera abalonde bange erinnya lyammwe okuba ekikolimo, era Mukama Katonda alikutta; n'atuuma abaddu be erinnya eddala: |
|
| 16 |
|
| eyeesabira omukisa mu nsi kyanaavanga yeesabira omukisa eri Katonda ow'amazima; n'oyo alayira mu nsi anaalayiranga Katonda ow'amazima; kubanga obuyinike obwasooka bwerabiddwa, era kubanga bukwekeddwa amaaso gange. |
|
| 17 |
|
| Kubanga, laba, ntonda eggulu eriggya n'ensi empya: so ebintu ebyasooka tebirijjukirwa so tebiriyingira mu mwoyo. |
|
| 18 |
|
| Naye musanyuke mujagulize ennaku zonna ekyo kye ntonda: kubanga, laba, ntonda Yerusaalemi okuba okusanyuka, n'abantu baamu okuba essanyu. |
|
| 19 |
|
| Era ndisanyukira Yerusaalemi ne njaguliza abantu bange: so n'eddoboozi ery'okukaaba nga terikyawulirwa omwo nate newakubadde eddoboozi ery'okulira. |
|
| 20 |
|
| Temukyavangamu mwana wa nnaku bunaku, newakubadde omukadde atannatuusa nnaku ze: kubanga omwana alifa nga yaakamaze emyaka kikumi, n'alina ebibi nga yaakamaze emyaka kikumi alikolimirwa. |
|
| 21 |
|
| Era balizimba ennyumba ne basulamu; era balisimba ensuku ez'emizabbibu ne balya ebibala byamu. |
|
| 22 |
|
| Tebalizimba omulala n'asulamu; tebalisimba omulala n'alya: kubanga ng'ennaku ez'omuti bwe ziba, bwe zityo bwe ziriba ennaku ez'abantu bange, n'abalonde bange balirwawo nga balya omulimu ogw'engalo zaabwe. |
|
| 23 |
|
| Tebalikolera bwereere mirimu so tebalizaala ba kulaba nnaku; kubanga lye zzadde ly'abo abaweebwa Mukama omukisa, n’enda yaabwe wamu nabo. |
|
| 24 |
|
| Awo olulituuka nga tebannaba kuyita ndiyitaba; era nga bakyayogera ndiwulira. |
|
| 25 |
|
| Omusege n'omwana gw'endiga binaaliiranga wamu, n’empologoma eneeryanga omuddo ng'ente: n'enfuufu ye eneebanga emmere ey'omusota. Tebiriruma so tebirizikiririza ku lusozi lwange lwonna olutukuvu, bw'ayogera Mukama. |
|
|
|
|