×

Luganda Bible 2003

Isaaya 65

1
Mukama agamba nti: “Nakkiriza okunoonyezebwa abo abatambuulirizangako. Nakkiriza okuzuulibwa abo abatannoonyanga. Eggwanga eritankoowoola naligamba nti: ‘Nzuuno, ndi wano.’
2
Nagololera emikono gyange olunaku lwonna abantu abajeemu, abagoberera empisa ezitali nnungi. Bo bye balowooza bye bagenderako.
3
Bansunguwaza olutata nga baweerayo ebitambiro mu nnimiro, era nga bootereza obubaane ku matoffaali.
4
Ekiro bagenda mu limbo ne ku malaalo, ne basula mu bifo ebikisiddwa. Balya ennyama y'embizzi, ne bawuutira mu bibya byabwe omucuuzi gw'ennyama ey'omuzizo.
5
Bagamba bannaabwe nti: ‘Muyimirire eri wala temutusemberera. Ffe tuli batukuvu okusinga mmwe tetusaana kubeeriraanya!’ Abantu abali ng'abo siyinza kubagumiikiriza. Mbawanda lulusu era mbasibira obusungu obwokya ng'ettuntu!
6
“Laba, nakisalawo dda era ne kiwandiikibwa nga bwe ndibabonereza. Sigenda kubaleka, wabula ndibaweera nga bwe basaanira
7
olw'ebibi byabwe, wamu n'ebya bajjajjaabwe, abaayoterezanga obubaane ku nsozi, ne banzivoolera ku busozi. N'olwekyo ndibabonereza nga nsinziira ku bye baakola. Nze Mukama, njogedde.”
8
Mukama agamba nti: “Nga mu mizabbibu bwe balondamu emirungi ne basogolamu omwenge, nga bagamba nti: ‘Temugizikiriza egyo kubanga girimu omugaso,’ bwe ntyo nange bwe ndikola ku lw'abaweereza bange, nneme kubazikiriza bonna.
9
Mu bazzukulu ba Yakobo ne mu ba Yuda ndyerobozaamu abalifuna ensi eyo omuli ensozi zange. Abalondemu bange era abaweereza bange eriba yaabwe ku bwabwe, era babeerenga omwo.
10
Olw'abantu bange abansinza, Olusenyi lw'e Saroni lulifuuka ddundiro lya ndiga, n'Ekiwonvu kya Akori kirifuuka kifo, ente mwe zigalamira.
11
“Naye mmwe abanvaako, Nze Mukama, abeerabira Olusozi lwange Olutukuvu, ne mutegekera ebijjulo Lubaale-Agaba-Emikisa, ne mujjuliza Lubaale w'Ebigwawo omwenge omutabule gwe muteeka mu bikopo byammwe,
12
ndibateekerawo ekitala mwenna mukutame okuttibwa, kubanga bwe nabayita, temwayitaba; bwe nayogera, temwafaayo kuwulira; naye mwakola bye nabagaana, mwalondawo ebitansanyusa.
13
Kale Nze Mukama Afugabyonna kyenva ŋŋamba nti abo abansinza balirya, era balinywa, naye mmwe mulirumwa enjala n'ennyonta. Bo balisanyuka, naye mmwe muliswazibwa.
14
Abo abakola bye njagala baliyimba olw'essanyu, naye mmwe mulikaaba olw'okunakuwala, ne muwowoggana olw'obulumi.
15
Abalondemu bange banaakozesanga erinnya lyammwe nga bakolima. Nze Mukama Afugabyonna ndibatta mmwe, naye ne ntuuma erinnya eriggya abo abakola bye njagala.
16
N'olwekyo, eyeesabira omukisa mu nsi anaagusabanga Nze, Katonda ow'amazima. N'oyo alayira, anaalayiranga Nze, Katonda ow'amazima, kubanga emitawaana egy'edda giriggwaawo, giryerabirwa, nga sikyagifaako.
17
“Nzuuno ntonda eggulu eriggya n'ensi empya. Ebintu eby'edda tebirijjukirwa, wadde okulowoozebwako.
18
Naye musanyukire era mujaguze ennaku zonna mu ekyo kye ntonda; kubanga Yerusaalemu kye ntonda, kiriba kya kusanyukiramu, era abantu baamu, balijjula essanyu.
19
Ndisanyukira Yerusaalemu, ne njaguza olw'abantu bange. Tewaliba kukaaba maziga, wadde okutema emiranga olw'ennaku.
20
Abaana baliba tebakyafa nga bato. Abantu bonna banaawangaalanga emyaka gyabwe emijjuvu. Abawangadde emyaka ekikumi banaayitibwanga baana bato. Okufa nga togiwezezza kanaabanga kabonero ka kukolimirwa.
21
Abantu balizimba ennyumba ne bazibeeramu. Balisimba ennimiro z'emizabbibu, ne balya ebibala byamu.
22
Amayumba ge balizimba, tegalisulwamu balala, ne bye balisimba tebiririibwa balala. Ng'emiti bwe giwangaala emyaka emingi, n'abantu bange bwe baliwangaala. Abalondemu bange balirwawo nga balya ku bibala ebiva mu ntuuyo zaabwe.
23
Emirimu gye balikola, tegiribafa bwereere, n'abaana be balizaala, tebaliba ba kulaba nnaku, kubanga baliba zzadde ly'abo, Nze Mukama, be mpadde omukisa, bo bennyini, wamu n'ezzadde lyabwe.
24
Ekiseera ekyo bwe kirituuka, nnaabayitabanga nga tebannaba na kumpita; nnaabaanukulanga nga tebannaba na kumbuuza. Banaabanga bakyayogera, nga Nze nabawulidde dda.
25
Omusege n'endiga ento binaaliiranga wamu, n'empologoma eneeryanga muddo ng'ente; n'enfuufu, ye eneebanga emmere y'omusota. Ku Lusozi lwange lwonna Olutukuvu, tekuubenga kya kabi wadde ekizikiriza.” Mukama bw'atyo bw'agamba.
Luganda Bible 2003
Luganda DC Bible Society of Uganda, 2003.
:
Save Notes