Bw'ati bw'ayogera Mukama nti, “ Eggulu ye ntebe yange, n'ensi ye ntebe y'ebigere byange; nnyumba ki gye mulinzimbira? Era kifo ki ekiriba ekiwummulo kyange?
Kubanga bino byonna omukono gwange gwe gwabikola, era ebyo byonna ne bibaawo bwe bityo, bw'ayogera Mukama. Naye omuntu alina omwoyo oguboneredde era ow'eggonjebwa era omwetoowaze era akankanira ekigambo kyange ye wuuyo gwe nditunuulira.
Ani eyali awulidde ekigambo ekifaanana bwe kityo? Ani eyali alabye ebigambo ebifaanana bwe bityo? Ensi erizaalwa ku lunaku lumu? eggwanga liriva mu lubuto mulundi gumu? Kubanga Sayuuni yali nga kyajje alumwe n'azaala abaana be.
Era mulikiraba n'omutima gwammwe gulijaguza n'amagumba gammwe galyera ng'omuddo omugonvu; n'omukono gwa Mukama gulimanyibwa eri abaddu be, era alisunguwalira abalabe be.
Era nditeeka akabonero mu bo, n'abo abaliwona ku bo ndibatuma mu mawanga, eri Talusiisi, Puuli ne Luudi, abaleega omutego, eri Tubali ne Yavani, mu bizinga ebiri ewala, abatawuliranga ttutumu lyange, so tebalabanga kitiibwa kyange; kale balibuulira amawanga ekitiibwa kyange.
Awo balireeta baganda bammwe bonna nga babaggya mu mawanga gonna okuba ekiweebwayo eri Mukama, ku mbalaasi ne mu magaali ne ku nnyinyo ne ku nnyumbu ne ku nsolo ez'embiro, awali olusozi lwange olutukuvu Yerusaalemi, bw'ayogera Mukama, ng'abaana ba Isiraeri bwe baleeta ekyo kye bawaayo mu kintu ekirongoofu mu nnyumba ya Mukama.
Awo olulituuka, okuva ku mwezi okutuusa ku mwezi, n'okuva ku Ssabbiiti okutuusa ku Ssabbiiti, bonna abalina omubiri banajjanga okusinziza mu maaso gange, bw'ayogera Mukama.”