×

EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI

Isaaya 9

1
Naye tewaliba kizikiza eri oyo eyali abonyaabonyezebwa. Ensi ya Zebbulooni n'ensi ya Nafutaali edda zaali zinyoomebwa, naye mu kiseera eky'oluvannyuma ndizifuula za kitiibwa, okuva ku nnyanja, emitala wa Yoludaani, okutuuka ku Ggaliraaya ey'abamawanga.
2
Abantu abaatambuliranga mu kizikiza, balabye omusana mungi: abo abaatuulanga mu nsi y'ekizikiza ekingi, omusana gubaakidde.
3
Oyazizza eggwanga, obongedde essanyu, basanyukira mu maaso go ng'abantu bwe basanyuka mu biseera eby'amakungula, ng'abasajja bwe basanyuka nga bagabana omunyago.
4
Kubanga ekikoligo ekyabazitoowereranga, n'omuggo ogwa bakubanga ku bibegabega byabwe, n'olugga lwabo ababajooganga, obimenyeemenye nga ku lunaku lwe wawangula Midiyaani.
5
Kubanga buli ngatto ya musirikale ali mu lutalo, era n'ebyambalo ebikulukuunyiziddwa mu musaayi, birifuulibwa enku ne byokebwa omuliro.
6
Kubanga omwana atuzaaliddwa ffe, omwana ow'obulenzi atuweereddwa, anaabanga mufuzi waffe. Aliyitibwa Wa kitalo, Ateesa ebigambo, Katonda ow'amaanyi, Kitaffe ow'olubeerera, omulangira ow'emirembe.
7
Okufuga kwe n'emirembe tebirikoma kweyongeranga. Alifuga nga ye musika wa Dawudi, alinyweza obwa kabaka bwe, ku musingi ogw'amazima n'obwenkanya, okuva leero n'okutuusa emirembe n'emirembe. Mukama ow'eggye amaliridde okutuukiriza ekyo.
8
Mukama bye yalabula bazzukulu ba Yakobo, bituukiridde ku Isiraeri.
9
Era abantu bonna balimanya, Efulayimu n'abatuula mu Samaliya, aboogera n'amalala n'obukakanyavu bw'omutima
10
nti, Ebizimbe by'amatoffaali bigudde, naye tujja kuzimbya amayinja amoole; emisukamooli gitemeddwawo, naye mu kifo kyagyo, tunaazzaawo emivule
11
Mukama kyaliva akunga abalabe ba Lezini, nabawaga okumulumba.
12
Abasuuli okuva ebuvanjuba n'Abafirisuuti okuva ebugwanjuba balyasamya akamwa kaabwe okumira Isiraeri. Wadde nga ebyo byonna bimaze okubaawo, obusungu bwa Mukama buliba bukyaliwo, era aliba akyagolodde omukono gwe okubabonereza.
13
Naye aba Isiraeri tebeenenya newaankubadde nga Mukama ow'eggye yabakuba, era tebaakyuka kumunoonya.
14
Mukama kyaliva asala ku Isiraeri omutwe n'omukira, olukindu n'olumuli, ku lunaku lumu.
15
Omusajja omukadde era ow'ekitiibwa gwe mutwe; ne nnabbi ayigiriza eby'obulimba gwe mukira.
16
Kubanga abakulembera abantu bano babakyamya, n'abo abakulemberwa babuzaabuzibwa.
17
N'olwekyo Mukama tasanyukira bavubuka baabwe, era tasaasira abali mu bo abatalina bakitaabwe, wadde bannamwandu baabwe, kubanga buli muntu tamanyi Katonda era mukozi wa bibi era buli mumwa gwogera byabusirisiru. Olw'ebyo byonna obusungu bwa Mukama tebunnavaawo, era akyagolodde omukono gwe okubabonereza.
18
Okwonoona kw'abantu kwokya ng'omuliro ogusaanyaawo emyeramannyo n'amaggwa, gukoleeza eby'omu kibira omukka ne gunyooka ne gutumbiira waggulu.
19
Olw'obusungu bwa Mukama ow'eggye ensi egyiiridde ddala, era n'abantu bali ng'enku ez'omuliro, tewali asonyiwa muganda we.
20
Balimalawo eby'okulya eby'oku mukono ogwa ddyo, naye balisigala bayala, balirya n'eby'oku kkono, naye tebalikutta era balituuka buli muntu okulya munne.
21
Aba Manase n'aba Efulayimu balirumbagana, era balyegatta wamu ne balumba aba Yuda. Ebyo byonna nga bimaze okubaawo naye obusungu bwa Mukama buliba tebunnavaawo, era ng'akyagolodde omukono gwe okubabonereza.
Luganda Bible LBR
Bible Society of Uganda.
:
Save Notes