Luganda Bible
|
| 1 |
| Muwulire ekigambo Mukama ky'abagamba, mmwe ennyumba ya Isiraeri: |
| 2 |
| bw'ati bw'ayogera Mukama nti Temuyiganga kkubo lya mawanga, so temweraliikiriranga bubonero bwa mu ggulu; kubanga amawanga gabweraliikirira. |
| 3 |
| Kubanga empisa ez'amawanga teziriiko kye zigasa: kubanga wabaawo omu atema omuti mu kibira, omulimu ogw'emikono gy'omukozi n'embazzi. |
| 4 |
| Baguyonja ne ffeeza ne zaabu; bagukomerera n'enninga n'ennyondo gulemenga okusagaasagana. |
| 5 |
| Bifaanana olukoma oluliko enjola so tebyogera: tebirema kusitulibwa kubanga tebiyinza kutambula. Temubityanga; kubanga tebiyinza kukola bubi so n'okukola obulungi tekuli mu byo. |
| 6 |
| Tewali afaanana ggwe, ai Mukama; ggwe mukulu, n'erinnya lyo kkulu mu buyinza. |
| 7 |
| Ani atandikutidde, ai Kabaka w'amawanga? kubanga kukugwanira ggwe: kubanga mu bagezigezi bonna ab'amawanga ne mu kitiibwa kyabwe kyonna ekya bakabaka temuli akufaanana ggwe. |
| 8 |
| Naye bo bonna wamu bali ng'ensolo, basirusiru: okuyigiriza kw'ebifaananyi kisiki busiki. |
| 9 |
| Waliwo ffeeza eyaweesebwa okuba ey'empewere eyaggibwa e Talusiisi, ne zaabu eyava e Yufazi, omulimu ogwa fundi, n'ogw'emikono gy'omuweesi wa zaabu; kaniki n’olugoye olw'effulungu okuba ebyambalo byabyo; byonna mulimu gwa basajja abakabakaba. |
| 10 |
| Naye Mukama ye Katonda yennyini ow'amazima; oyo ye Katonda omulamu, era Kabaka ataggwaawo: ensi ekankana olw'obusungu bwe, so n'amawanga tegayinza kugumiikiriza kunyiiga kwe. |
| 11 |
| Bwe muti bwe muba mubaganba nti Bakatonda abatakola ggulu na nsi, abo balibula mu nsi n'okuva wansi w'eggulu. |
| 12 |
| Yakola ensi olw'obuyinza bwe, yanyweza ebintu byonna olw'amagezi ge, era yabamba eggulu olw'okutegeera kwe: |
| 13 |
| bw'aleeta eddooozi lye, ne waba oluyoogaano alw'amazzi mu ggulu, era alinnyisa emikka okuva ku nkomerero z'ensi; akolera enkuba enjota, era aggya embuyaga mu mawanika ge. |
| 14 |
| Buli muntu afuuse ng'ensolo, so talina kumanya; buli muweesi wa zaabu ensonyi zimukwata olw'ekifaananyi kye ekyole: kubanga ekifaananyi kye ekisaanuuse bulimba, so temuli mukka mu byo. |
| 15 |
| Tebiriiko kye bigasa, mulimu gwa bulimba: biribulira mu biro mwe birijjirirwa. |
| 16 |
| Omugabo gwa Yakobo tegufaanana ebyo; kubanga oyo ye mubumbi wa byonna; era Isiraeri kye kika eky'obusika bwe: Mukama w'eggye lye linnya lye. |
| 17 |
| Kuŋŋaanya eby'obuguzi bwo obiggye mu nsi, ggwe atuula mu kibuga ekizingizibwa. |
| 18 |
| Kubanga bw’ati bw'ayogera Mukama nti Laba, ndivuumuula abatuula mu nsi okubaggyamu mu biro bino, era ndibasaasaanya, balumibwe. |
| 19 |
| Zinsanze olw'ekiwundu kyange! ekiwundu kyange kinnuma nnyo: naye ne njogera nti Mazima buno bwe buyinike bwange, era kiŋŋwanira okubugumiikiriza. |
| 20 |
| Eweema yange enyagiddwa, n'emigwa gyange gyonna gikutuse: abaana bange banvuddemu, so tebaliiwo: tewakyali wa kubamba weema yange, newakubadde ow'okusimba amagigi gange. |
| 21 |
| Kubanga abasumba bafuuse ng'ensolo, so tebabuuzizza Mukama: kyebavudde balema okulaba omukisa, n'embuzi zaabwe zonna zisaasaanye. |
| 22 |
| Eddoboozi ery'ekigambo kye babuulira, laba, lijja, n'okusasamala okunene okuva mu nsi ey'obukiika obwa kkono, okufuula ebibuga bya Yuda amatongo, ekisulo eky'ebibe. |
| 23 |
| Ai Mukama, mmanyi ng'ekkubo ery'omuntu teriri mu ye yennyini: tekiri mu muntu atambula okuluŋŋamyanga ebigere bye. |
| 24 |
| Ai Mukama, ombuulire, naye mpola; si lwa busungu bwo oleme okunzikiriza. |
| 25 |
| Fukira ddala ekiruyi kyo ku b'amawanga abatakumanyi, ne ku bika ebitakoowoola linnya lyo: kubanga balidde Yakobo, weewaawo, bamulidde, bamumazeewo, bazisizza ekifo kye mw'abeera. |
|
| Save Notes |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/luganda/jeremiah/010.mp3
52
10