×

EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI

Yeremiya 13

1
Bw'ati Mukama bwe yaŋŋamba nti, “Genda weegulire ekimyu eky'olugoye, okyesibe mu kiwato kyo, so tokinnyika mu mazzi.”
2
Awo ne nneegulira ekimyu eky'olugoye, ng'ekigambo kya Mukama bwe kyali, ne nkyesiba mu kiwato kyange.
3
Awo ekigambo kya Mukama ne kijja gyendi omulundi ogwokubiri, nti,
4
Ddira ekimyu eky'olugoye kye wagula ekiri mu kiwato kyo, osituke ogende ku mugga Fulaati, okikweke eyo mu lwatika oluli mu lwazi.
5
Awo ne ŋŋenda ne nkikweka ku mugga Fulaati, nga Mukama bwe yandagira.
6
Awo olwatuuka ennaku nnyingi nga ziyiseewo Mukama n'aŋŋamba nate nti, “Situka ogende ku mugga Fulaati oggyeyo ekimyu eky'olugoye kye nnakulagira okukweka eyo.”
7
Awo ne ŋŋenda ku mugga Fulaati ne nsima nnenziggya ekimyu eky'olugoye mu kifo mwe nnali nkikwese. Kale, laba, ekimyu eky'olugoye nga kyonoonese, nga tekikyaliiko kye kigasa.
8
Awo ekigambo kya Mukama ne kijja nate gyendi nti,
9
“Bw'ati bw'ayogera Mukama nti Bwe ntyo bwe ndizikiriza amalala ga Yuda n'amalala amangi aga Yerusaalemi.
10
Abantu bano ababi bagaana okuwulira ebigambo byange, era batambulira mu bukakanyavu bw'omutima gwabwe, era bagoberedde bakatonda abalala okubaweerezanga n'okubasinzanga, balibeerera ddala ng'ekimyu eky'olugoye kino ekitaliiko kye kigasa.
11
Kuba nga ekimyu eky'olugoye bwe kyegatta n'ekiwato ky'omuntu, bwe ntyo nange bwe nneegasse n'ennyumba yonna eya Isiraeri n'ennyumba yonna eya Yuda,” bw'ayogera Mukama, “balyoke babeerenga gye ndi eggwanga era erindetera ettendo era ne kitiibwa: naye ne batayagala kuwulira.
12
“Kyoliva obagamba ekigambo kino nti, ‘Bw'ati bw'ayogera Mukama, Katonda wa Isiraeri, nti, Buli kita kirijjula omwenge.’ Nabo balikugamba nti, Tetumanyi nga buli kita kirijjula omwenge?”
13
“Awo n'olyoka obagamba nti, Bw'ati bw'ayogera Mukama nti, Laba, ndijjuza obutamiivu abantu bonna abali mu nsi eno, bakabaka abatuula ku ntebe ya Dawudi, ne bakabona, ne bannabbi, ne bonna abali mu Yerusaalemi.
14
Era ndibatandagira omuntu ne munne, bakitaabwe ne batabani baabwe wamu, bw'ayogera Mukama. Sirisaasira so sirisonyiwa so sirikwatibwa kisa, obutabazikiriza.”
15
Muwulire, mutege amatu; temuba na malala, kubanga Mukama ayogedde.
16
Mumuwe Mukama Katonda wammwe ekitiibwa, nga tannaleeta kizikiza era ng'ebigere byammwe tebinnaba kwesittalira ku nsozi ez'ekizikiza; era nga bwe musuubira omusana, n'agufuula ekisiikirize eky'okufa n'aguddugaza okuba ekizikiza ekikutte.
17
Naye bwe mutalikkiriza kuwulira emmeeme yange erikaaba amaziga kyama olw'amalala gammwe; n'amaaso gange galikaaba nnyo amaziga, ne gakulukuta amaziga, kubanga ekisibo kya Mukama kikwatiddwa.
18
Gamba kabaka ne nnamasole nti, “Mwetoowaze mutuule wansi; kubanga ebiremba byammwe bikkakkanye, n'engule ey'ekitiibwa kyammwe evudde ku mitwe ggyammwe.
19
Ebibuga eby'obukiikaddyo biggaddwawo, so tewali wa kubiggulawo, Yuda atwaliddwa yenna nga musibe; yenna atwaliddwa ddala nga musibe.”
20
“Muyimuse amaaso gammwe mulabe abo abava obukiikakkono.” Kiri ludda wa ekisibo kye waweebwa, ekisibo kyo ekirungi?
21
Olyogera otya, bwe balikuteekako okukufuga abo ggwe kennyini be wayigiriza okuba mikwano gyo? Obuyinike tebulikukwata ng'omukazi alumwa okuzaala?
22
Era bw'onooyogeranga mu mutima gwo nti, Lwaki ebigambo bino byonna binzijjidde? Bizze olw'okweyongera kw'obutali butuukirivu bwo, engoye zo zibikuddwa, era oboonaabona n'obukambwe.
23
Omuwesiyopya ayinza okukyusa olususu lw'omubiri gwe, oba engo eyinza okukyusa amabala gaayo? Kale nammwe temuyinza kukola bulungi abaamanyiira okukola obubi.
24
Kyendiva mbasaasaanya ng'ebisasiro bwe bisaasaanyizibwa embuyaga ez'omu ddungu.
25
Guno gwe mugabo gwe nnakugerera, bw'ayogera Mukama; kubanga wanneerabira ne weesiga obulimba.
26
Nange kyendiva mbikkula engoye zo, mu maaso go, n'ensonyi zo zirirabika.
27
Nnalaba emizizo gyo, obwenzi bwo, n'obukaba bwo obuyitiridde obw'okwenda kwo, ku nsozi ez'omu ttale. Zikusanze, ayi Yerusaalemi! Kinatwala bbanga ki ggwe okulongoosebwa?
Luganda Bible LBR
Bible Society of Uganda.
:
Save Notes