Ai, ggwe essuubi lya Isiraeri, amulokolera mu biro eby'okulabiramu ennaku, wandibeeredde ki ng'omuyise mu nsi, era ng'omutambuze akyama okukeesa obudde?
Wandibeeredde ki ng'omuntu asamaaliridde, ng'omusajja ow'amaanyi atayinza kulokola? era naye ggwe, ai Mukama, oli wakati mu ffe, naffe tutuumiddwa erinnya lyo; totuleka.
Awo ne ndyoka njogera nti Woowe, Mukama Katonda! laba, bannabbi babagamba nti Temuliraba kitala so temuliba na njala; naye ndibawa emirembe egy'enkalakkalira mu kifo kino.
Mukama kyava ayogera bw'ati ebya bannabbi abalagulira mu linnya lyange so saabatuma, naye ne boogera nti Ekitala n'enjala tebiriba mu nsi eno: nti Ekitala n'enjala bye birizikiza bannabbi abo.
N'abantu be balagula balisuulibwa mu nguudo ez'e Yerusaslemi olw'enjala n'ekitala; so tebaliba na balibaziika, bo ne bakazi baabwe newakubadde batabani baabwe newakubadde bawala baabwe: kubanga ndifuka ku bo obubi bwabwe.
Bwe nnaafuluma mu ttale, kale, laba, abattiddwa n'ekitala era bwe nnaayingira mu kibuga, kale, laba, abo abalwadde olw'enjala kubanga nnabbi era ne kabona batambulira mu nsi so tebalina kumanya.