Awo Mukama n'alyoka aŋŋamba nti Musa ne Samwiri newakubadde nga bayimiridde mu maaso gange, era emmeeme yange teyandiyinzizza kutunuulira bantu bano: bagobe mu maaso gange, baveewo.
Awo olulituuka bwe balikugamba nti Tunadda wa nga tuvuddewo? kale n'obagamba nti Bw'atyo bw'ayogera Mukama nti Ab'okuttibwa bagende eri okuttibwa; n'ab'ekitala eri ekitala; n'ab'enjala eri enjala; n'ab'okusibibwa eri okusibibwa.
Era ndibawaayo okuyuuguumizibwa eruuyi n'eruuyi mu bwakabaka bwonna obw'ensi, olwa Manase mutabani wa Keezeekiya kabaka wa Yuda olw'ekyo kye yakolera mu Yerusaalemi.
Bannamwandu baabwe beeyongedde gye ndi okusinga omusenyu ogw'ennyanja: ndeese ku bo ku nnyina w'abalenzi omunyazi mu ttuntu: mugwisizzaako obubalagaze n'ebitiisa nga tamanyiridde.
Eyazaala omusanvu ayongobera; atadde obulamu; enjuba ye egudde nga bukyali bwa misana; akwatiddwa ensonyi, aswadde: n'abalifikkawo ku bo ndibagabula eri ekitala mu maaso g'abalabe baabwe, bw'ayogera Mukama.
Zinsanze, nnyabo, kubanga wanzaala nga ndi musajja wa nnyombo era ow'empaka eri ensi zonna siwolanga lwa magoba, so n'abantu tebampolanga lwa magoba; naye buli muntu ku bo ankolimira,
Mukama yayogera nti Mazima ndikuwa amaanyi olw'obulungi; mazima ndikwegayiriza omulabe mu biro eby'okulabiramu ennaku ne mu biro eby'okubonyaabonyezebwamu.