Kubanga Mukama bw'ayogera bw'ati eby'abaana ab'obulenzi n'ab'obuwala abazaalirwa mu kifo kino n'ebya bannyaabwe ababazaala n'ebya bakitaabwe ababazaalira mu nsi muno, nti
Balifa bubi; tebalikungubagirwa so tebaliziikibwa; baliba ng'obusa ku maaso g'ettaka: era balimalibwawo n'ekitala n'enjala n'emirambo gyabwe giriba mmere ya nnyonyi ez'omu bbanga era ya nsolo ez'omu nsi.
so abantu tebalibabegera mmere nga babakaabira, okubakubagiza olw'abafu; so abantu tebalibawa kikompe kya kusanyusa okunywa olwa kitaabwe oba olwa nnyaabwe.
Kubanga bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye, Katonda wa Isiraeri, nti Laba, ndikomya mu kifo kino mu maaso gammwe nammwe nga mukyali balamu, eddoboozi ery'ebinyumu n'eddoboozi ery'okusanyuka, eddoboozi eryawasa omugole n'eddoboozi ly'omugole.
Awo olulituuka bw'olitegeeza abantu bano ebigambo bino byonna, bo ne bakugamba nti Kiki ekyogezezza Mukama obubi buno bwonna obunene eri ffe? oba atulanga ki? oba kyonoono ki kye twonoonye Mukama Katonda waffe?
kale n'olyoka obagamba nti Kubanga bajjajjammwe banvaako, bw'ayogera Mukama, ne batambula okugoberera bakatonda abalala ne babaweereza ne babasinza ne bava ku nze, so tebaakwata mateeka gange;
naye nti Nga Mukama bw'ali omulamu eyaggya abaana ba Isiraeri mu nsi ey'obukiika obwa kkono ne mu matwale gonna gye yali abagobedde: era ndibakomyawo mu nsi y'ewaabwe gye nnawa bajjajjaabwe.
Laba, nditumya abavubi bangi, bw'ayogera Mukama, era balibavuba; oluvannyuma nditumya abayizzi bangi, era balibayigga okubaggya ku buli lusozi ne ku buli kasozi, ne mu bunnya obw'omu mayinja.
Ai Mukama, amaanyi gange era ekigo kyange, era obuddukiro bwange ku nnaku olw'okulabiramu ennaku, eri gwe amawanga gye galijja nga bava ku nkomerero z'ensi, era balyogera nti Bajjajjaffe baasikira bulimba bwereere, birerya n'ebigambo ebitaliiko kye bigasa.