BIBULIYA ENTUKUVU
|
| 1 |
| Ekigambo ky'Omukama kyajja gye ndi nti: |
| 2 |
| “Towasa mukazi era tozaalira mu kifo kino baana, |
| 3 |
| kubanga Omukama kino ky'agamba ku baana abalenzi n'abawala abazaalirwa mu kifo kino, ne ku bakazi bannyaabwe ne ku basajja bakitaabwe: |
| 4 |
| ‘Balifa endwadde ezitta; tebalikaabirwa yadde okuziikibwa, wabula baliba ng'obusa obumanse wonna ku ttaka. Balisaanyizibwawo ekitala n'enjala, n'emirambo gyabwe giribeera mmere ya binyonyi eby'omu bbanga n'ey'ebisolo ku nsi.’ |
| 5 |
| “Kubanga Omukama kino ky'agamba: Toyingira mu nnyumba mwe bakungubaga, togenda kukaaba yadde okukubagiza, kubanga abantu abo mbaggyeeko emirembe gyange, ekisa kyange n'okusaasira kwange, Omukama y'agamba. |
| 6 |
| Abanene n'abatene balifiira mu nsi eno, awataliba kuziikibwa yadde abantu okubakungubagira; tebalibeesalira misale na kubamwera nviiri. |
| 7 |
| Teriba mmere eweebwa mukungubazi okumukubagiza olw'okufiirwa; teriba amuwa kaakunywa olw'okumukubagiza, ne bw'aliba akungubagira kitaawe oba nnyina. |
| 8 |
| “Toyingira mu nnyumba muli mbaga, otuule, onywe nabo. |
| 9 |
| Kubanga Omukama w'Amagye Katonda wa Yisirayeli, kino ky'agamba: ‘Mu kifo kino, mu budde bwo, ng'olaba bw'oti, ŋŋenda kukomya eddoboozi ly'essanyu n'okujaguza, n'eddoboozi ly'awasa n'ery'omugole.’ |
| 10 |
| “Bw'oliba omaze okubuulira abantu bano ebigambo ebyo byonna, ne bakubuuza nti: ‘Lwaki Omukama atulangirira akabi akanene ako konna? Musango ki gwe twazza? Kibi ki kye twasobya Omukama Katonda waffe?’ |
| 11 |
| obagambanga nti: ‘Kubanga bajjajjammwe banjabulira,’ Omukama y'agamba, ‘ne bagoberera balubaale, ne babaweereza, ne babavunnamira okubasinza. Nze bandeka, ne batakwata tteeka lyange. |
| 12 |
| Naye ate nammwe mukoze na bubi okusinga bajjajjammwe. Kale mulabe, buli omu mu mmwe agoberera obukakanyavu bw'omutima gwe omubi mu kifo ky'okumpulira. |
| 13 |
| N'olw'ekyo ŋŋenda kubakasuka okuva mu nsi muno, mbasuule mu nsi mmwe ne bajjajjammwe gye mutamanyangako. Eyo gye muliweerereza balubaale emisana n'ekiro, kubanga sijja kubalaga busaasizi.’ |
| 14 |
| “Awo nno ennaku zijja,” Omukama y'agamba, “abantu nga tebakyagamba nti: ‘Mazima Omukama nga mulamu, eyaggya abantu ba Yisirayeli mu nsi y'e Misiri,’ |
| 15 |
| wazira nti: ‘Mazima Omukama nga mulamu, eyaggya Abayisirayeli mu nsi y'emambuka ne mu nsi zonna gye yali abagobedde.’ Kubanga ndibakomyawo mu nsi yaabwe gye nawa bajjajjaabwe. |
| 16 |
| “Naye kati ŋŋenda kusindika abavubi bangi babavube,” Omukama y'ayogera. “Ate oluvannyuma ndibasindikira abayizzi bangi; abalibayigga ku buli lusozi ne ku buli kasozi ne yonna eyo mu mpampagama z'enjazi. |
| 17 |
| Amaaso gange gatunuulidde amakubo gaabwe gonna, tewali we ganeekisiza, n'ebibi byabwe tebirina we byekwese maaso gange. |
| 18 |
| Ndibabonereza emirundi ebiri olw'omusango gwabwe n'ekibi kyabwe, kubanga bajaajaamizza ensi yange n'emirambo gy'ebintu byabwe ebitaliimu, n'obusika bwange ne babujjuza ebyenyinyalwa byabwe.” |
| 19 |
| Ayi Mukama, amaanyi gange, ekigo kyange, obuddukiro bwange mu budde obw'akabi, ewuwo amawanga gye galijja okuva ku nkingi z'ensi, ne bagamba nti: “Bajjajjaffe bye baasikira temuli, wazira bulimba bwereere, ebitaliimu era ebitaliiko kye byabagasa. |
| 20 |
| Omuntu asobola okwekolera balubaale? Yee, naye ebyo tebiba Katonda.” |
| 21 |
| Kale nno nzija kubamanyisa, ku luno nzija kubamanyisa omukono gwange n'obuyinza bwange, olwo balitegeera ng'erinnya lyange nze Mukama. |
|
| Gaabu Hantumya |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/lugandabibu1/jeremiah/016.mp3
52
16