Musango gwo ggwe nti olifiirwa ensi gye nakuwa okuba omugabo gwo, ndikufuula muddu wa balabe bo mu nsi gy’otomanyangako, kubanga mu busungu bwange omuliro gukoleezeddwa ogunaayakanga emirembe gyonna.”
Ali ng’omuti ogusimbiddwa awali amazzi, ne gulandiza emirandira gyagwo ku mabbali g’omugga, nga wadde omusana gujja, tegutya n’amakoola gaagwo tegawotoka, so tegulyeraliikirira mu mwaka ogw’ekyeya era teguliremwa kubala bibala.
Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, Weegendereze oleme kufulumya mugugu gwonna mu nnyumba yo wadde okukola omulimu gwonna ku ssabbiiti, naye mukuume olunaku lwa Ssabbiiti nga lutukuvu nga temulukolerako mulimu gwonna,
olwo bakabaka abatuula ku ntebe ya Dawudi bajja kuyita mu miryango gy’ekibuga n’abakungu baabwe. Bo n’abakungu baabwe baakujja ng’abamu bavuga amagaali abalala nga beebagadde embalaasi, nga bawerekeddwako abasajja ba Yuda n’abo abali mu Yerusaalemi era ekibuga kino kiribeerwamu emirembe gyonna.
Abantu balijja okuva mu bibuga bya Yuda ne mu byalo ebiriraanye Yerusaalemi, okuva mu bitundu bya Benyamini ne mu biwonvu ne mu nsozi z’ebugwanjuba, n’okuva mu nsi ey’ensozi ey’e Negevu, nga baleeta ebiweebwayo ebyokebwa, ne ssaddaaka, ebiweebwayo eby’empeke, n’obubaane era n’ebiweebwayo eby’okwebaza mu nnyumba ya Mukama.
Naye bwe mutaŋŋondere kukuuma lunaku lwa Ssabbiiti nga lutukuvu ne mwetikkirako emigugu gyammwe nga mufuluma mu nguudo za Yerusaalemi ku lunaku olwa Ssabbiiti, ndikoleeza omuliro ogutazikira mu miryango gya Yerusaalemi oguliyokya ebigo byakyo.’ ”