BIBULIYA ENTUKUVU
|
| 1 |
| Ekigambo ky'Omukama ekyajja eri Yeremiya nti: |
| 2 |
| “Situka, oserengete ew'omubumbi, eyo gye nnaakubuulirira kye njagala okwogera.” |
| 3 |
| Ne nserengeta ew'omubumbi. Nnamusanga akola ku lubumbiro. |
| 4 |
| Ensumbi gye yali akola n'etavaamu bulungi nga bwe kitera okuba ku bbumba mu mikono gy'omubumbi. N'akolamu ensumbi endala mu ngeri ye gye yayagala. |
| 5 |
| Awo ekigambo ky'Omukama ne kijja gye ndi nti: |
| 6 |
| “Nnyumba ya Yisirayeli, kazzi nze sisobola kubakola ng'omubumbi oyo bw'akola? Omukama y'agamba. Ng'ebbumba bwe liba mu ngalo z'omubumbi, nammwe bwe muli mu ngalo zange, mmwe ennyumba ya Yisirayeli. |
| 7 |
| Singa olumu ŋŋamba eggwanga, oba obwakabaka, nti nzija kulisimbulawo, ndimenyewo, ndisaanyeewo, |
| 8 |
| naye eggwanga eryo lye nalabula limala liva mu bugwenyufu bwalyo, olwo ndyeddamu ku kabi ke mbadde nditegekera. |
| 9 |
| Naye ate olulala singa ŋŋamba eggwanga, oba obwakabaka, nti nzija kubuzimba mbusimbe, |
| 10 |
| naye ate ne bukola ekibi mu maaso gange, ne butawulira ddoboozi lyange, olwo ndyeddamu ku kirungi kye mbadde ndowooza okubukolera. |
| 11 |
| Kale nno gamba abantu ba Yuda n'abasula mu Yeruzaalemu nti: ‘Omukama kino ky'agamba: Ndiko akabi ke mbategekera, ndiko kye ndowooza okubakola. Awo nno buli omu ave mu kkubo lye ebbi; mutereeze amakubo gammwe n'ebikolwa byammwe.’ |
| 12 |
| Naye baliddamu nti: ‘Bya busa! Tujja kukola nga bwe tulowooza; tujja kugoberera buli omu bukakanyavu bwa mutima gwe omubi.’ ” |
| 13 |
| N'olw'ekyo Omukama kino ky'agamba: “Mubuulirize mu mawanga; eriyo eyali awulidde ekiri nga kino? Embeerera wa Yisirayeli akoze ekyesisiwaza ennyo. |
| 14 |
| Omuzira gwe Lebanoni guggwa ku njazi z'obuyiringito bwalwo? Oba amazzi amannyogovu gayinza okukalira, ago ag'emigga egisimbuka mu nsi ez'ewala? |
| 15 |
| Sso bo abantu bange banneerabidde; banyookeza ebitaliimu obubaani. Basinzittuse mu makubo gaabwe, mu bukubo bwabwe obw'edda. Babatambulizza mu bukubokubo, mu makubo agatannakolebwa. |
| 16 |
| Ensi yaabwe bagifudde eky'entiisa, ekintu ekinyoomebwa emirembe gyonna; buli muyise aliwuniikirira; alinyeenya mutwe. |
| 17 |
| Nga kikuŋŋunta ow'ebuvanjuba ndibasaasaanya mu maaso g'omulabe; ndibakuba nkoona, siribatunuulira ku lunaku olw'okuzikirira kwabwe.” |
| 18 |
| Ne bagamba nti: “Mujje, twekobere Yeremiya; kubanga etteeka teririggwa ku bakabona, ebibuuliro tebiriggwa ku bagezi n'ekigambo tekiriggwa ku balanzi. Mujje tumulwanyise n'olulimi, byonna by'ayogera tuleme kubiwuliriza.” |
| 19 |
| Mpuliriza, ayi Mukama, wulira abalabe bange kye bagamba. |
| 20 |
| Ekirungi yandikisasuddwamu na kibi? Kubanga nze bansimidde obuya. Jjukira nga bwe nayimiriranga mu maaso go ne mbawolereza gy'oli okubataasa obusungu bwo. |
| 21 |
| Kale nno, abaana baabwe balekere enjala, bagabule eri amaanyi g'ekitala; bakazi baabwe bafiise abaana, era bafuuke na bannamwandu; babbaabwe bafe kawumpuli, ne batabani baabwe battibwe ekitala mu lutalo. |
| 22 |
| Emiranga giwulirwe mu maka gaabwe, ng'obaleetedde omutemu amangu ago, kubanga bansimidde obuya okunkwata, ne bategera ebigere byange ebitimba. |
| 23 |
| Naye ggwe, ayi Mukama, omanyi enkwe zaabwe zonna okunzita. Tobasonyiwa musango gwabwe, n'ekibi kyabwe tokisangula mu maaso go. Balindiggulwe awo mu maaso go; bakoleko mu bbanga ly'obusungu bwo. |
|
| Gaabu Hantumya |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/lugandabibu1/jeremiah/018.mp3
52
18