oyogere nti Muwulire ekigambo kya Mukama, mmwe bassekabaka ba Yuda nammwe abali mu Yerusaalemi; bw'atyo bw'ayogera Mukama w'eggye, Katonda wa Isiraeri nti Laba, ndireeta obubi ku kifo kino, obulyamiriza amatu ga buli muntu alibuwulira.
Kubanga bandekawo ne bakaafuwaza ekifo kino, ne bootereza omwo bakatonda abalala obubaane, be batamanyanga bo ne bajjajjaabwe ne bassekabaka ba Yuda; era bajjuza ekifo kino omusaayi ogutaliiko musango;
era baazimba ebifo ebigulumivu ebya Baali okwokya batabani baabwe mu muliro okuba ebiweebwayo ebyokebwa eri Baali; kye ssiragiranga so saakyogera so tekyayingira mu mwoyo gwange:
kale, laba ennaku zijja, bw'ayogera Mukama ekifo kino lwe kitakyayitibwa nti Tofesi newakubadde nti Kiwonvu kya mutabani wa Kinomu, naye nti Kiwonvu eky'okuttirwamu.
Era nditta okuteesa kwa Yuda ne Yerusaalemi mu kifo kino; era ndibagwisa n'ekitala mu maaso g'abalabe baabwe, era n'omukono gw'abo abanoonya obulamu bwabwe: n'emirambo gyabwe ndigigabula okuba eby'okulya eri ennyonyi ez'omu bbanga n'eri ensolo ez'omu nsi.
Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye, Katonda wa Isiraeri nti Laba, ndireeta ku kibuga kino ne ku mbuga zaakyo zonna obubi bwonna bwe nnakyogerako; kubanga bakakanyazizza ensingo yaabwe baleme okuwulira ebigambo byange.