Bw'atyo bw'ayogera Mukama nti, “Butali butuukirivu ki bajjajjammwe bwe baalaba mu nze n'okugenda ne bagenda wala okunvaako, ne batambula okugoberera ebitaliimu ne bafuuka abataliimu nsa?
So tebeebuza nako nti, ‘Mukama ali ludda wa eyatuggya mu nsi y'e Misiri; eyatuyisa mu lukoola, mu nsi ey'amalungu n'obunnya, mu nsi ey'ennyonta n'ey'ekisiikirize eky'okufa, mu nsi omuntu yenna gyatayitamu, so n'omuntu yenna mw'atabeera?’
Ne mbaleeta mu nsi ey'ekyengera, okulyanga ebibala byamu n'obulungi bwamu; naye bwe mwayingira ne mwonoona ensi yange, ne mufuula obusika bwange okuba omuzizo.
Bakabona tebeebuuza nti, Mukama ali ludda wa? N'abo abakuumi b'amateeka tebammanya; era n'abakungu ne bansobya, bannabbi ne boogera ku lwa Baali ne batambula nga bagoberera ebitagasa.”
Obubi bwo ggwe buli kubonereza, era n'okuseeseetuka kwo kulikunenya. Manya era olabe nti kigambo kibi era kya bubalagaze, ggwe okuleka Mukama Katonda wo, era ng'entiisa yange teri mu ggwe,” bw'ayogera Mukama, Mukama ow'eggye.
“Oyinza otya okwogera nti, ‘Ssoonoonese, ssiigobereranga Babaali?’ Laba ekkubo lyo mu kiwonvu, otegeere bye wakola; oli ŋŋamira ya mbiro eyitaayita mu makubo gaayo;
entulege eyamanyiira amalungu ekonga empewo nga yeegomba; mu kiseera kyayo ani ayinza okugikyusa? Zonna eziginoonya teziryekooya; zinaagirabira mu mwezi gwayo.
“Omubbi nga bw'akwatibwa ensonyi, nga bamukutte, n'ennyumba ya Isiraeri bw'ekwatibwa ensonyi bw'etyo; bo ne bakabaka baabwe n'abakulu baabwe ne bakabona ne bannabbi baabwe;
Naye bakatonda bo be weekoledde bali ludda wa? Bo bagolokoke oba nga bayinza okukulokola mu biro mw'olabira ennaku, kubanga ebibuga byo nga bwe byenkana, ne bakatonda bo bwe benkana bwe batyo, ggwe Yuda.”