×

Luganda Bible 2003

Yeremiya 20

1
Awo kabona Pasuhuuri, mutabani wa Yimmeri, eyali akulira abakuuma Essinzizo, bwe yawulira Yeremiya omulanzi ng'alangirira ebyo,
2
n'ajja n'alagira ne bamukuba era ne bamusiba mu nvuba, eyali ku mulyango ogw'engulu ogwa Benyamiini mu Ssinzizo.
3
Enkeera Pasuhuuri n'asumulula Yeremiya mu nvuba. Yeremiya n'amugamba nti: “Mukama takuyise linnya lyo Pasuhuuri, wabula akuyise Ntiisabuliwantu.
4
Mukama agamba nti: ‘Ndikufuula eky'entiisa eri ggwe wennyini, n'eri mikwano gyo, era oliraba bwe battibwa abalabe baabwe mu lutalo. Ndiwaayo Obuyudaaya bwonna mu mikono gya kabaka wa Babilooni. Abamu alibatwala mu nsi ye nga basibe, abalala alibattira mu lutalo.
5
Obugagga bwonna n'ebintu byonna eby'omuwendo mu kibuga kino, omuli n'ebya bakabaka ba Buyudaaya, ndibiwaayo ne binyagibwa abalabe, buli kimu bakitwale e Babilooni.
6
Naawe Pasuhuuri, olikwatibwa n'otwalibwa e Babilooni ng'oli musibe n'ab'omu nnyumba yo bonna. Eyo gy'olifiira era gy'oliziikibwa, ggwe ne mikwano gyo bonna be walagulanga eby'obulimba.’ ”
7
Ayi Mukama wannimba ne nzikiriza! Onsinza amaanyi, era ompangudde. Nfuuse kisekererwa buli kadde, buli muntu ankudaalira.
8
Buli lwe njogera, ndeekaana ne nnangirira nti “Okunyaga n'okuzikiriza bijja!” Obubaka bwo, ayi Mukama, bunvumisa, era bunsekereza buli kadde.
9
Naye bwe ŋŋamba nti “Mukama ka mmwerabire, ndekere awo n'okumwogerera,” obubaka bwo buba ng'omuliro ogubuubuukira mu nze. Nfuba okubuzibiikiriza, ne siyinza kubuziyiza.
10
Mpulira nga bonna boogera obwama nti: “Buli wantu wabunye entiisa! Tumuloope mu b'obuyinza!” Ne mikwano gyange ennyo balindiridde kulaba bwe ngwa. Be bamu bagamba nti: “Singa asendebwasendebwa ne tumukwatiriza, ne tuwoolera eggwanga!”
11
Naye Mukama ali wamu nange ye muzira nnantalumbwa, era abanjigganya bajja kulumwa. Baliswala nnyo, kubanga tebayinza kuwangula. Balikwatibwa ensonyi ennaku zonna.
12
Naye ggwe, ayi Mukama Nnannyinimagye, ogeza abantu mu bwenkanya. Olaba bye balowooza mu mitima gyabwe. Kale ndaga nga bw'owoolera eggwanga, kubanga ensonga zange nzikwasizza ggwe.
13
Muyimbire Mukama, mutendereze Mukama, kubanga ataasa omunaku mu mikono gy'ababi.
14
Olunaku kwe nazaalirwa lukolimirwe! Olunaku mmange kwe yanzaalira, luvumirirwe!
15
Oyo akolimirwe, eyaleetera kitange amawulire agamusanyusa nti: “Ozaaliddwa omwana wa bulenzi.”
16
Omuntu oyo abe ng'ebibuga Mukama bye yazikiriza nga tasaasira. Awulire emiranga ku makya, n'enduulu z'abaserikale mu ttuntu,
17
kubanga teyanzita nga sinnazaalibwa. Mmange ye yandibadde entaana yange!
18
Kale nazaalirwa ki? Okulaba ennaku n'okubonaabona, n'okufiira mu buswavu?
Luganda Bible 2003
Luganda DC Bible Society of Uganda, 2003.
:
Gaabu Hantumya