×

EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI

Yeremiya 20

1
Awo Pasukuli kabona mutabani wa Immeri, eyali omwami omukulu ow'omu nnyumba ya Mukama, n'awulira Yeremiya ng'ayogera ebigambo ebyo.
2
Awo Pasukuli n'akuba Yeremiya nnabbi, n'amusiba mu nvuba eyali ku mulyango ogw'engulu ogwa Benyamini ogwali mu nnyumba ya Mukama.
3
Awo olwatuuka enkya, Pasukuli n'aggya Yeremiya mu nvuba. Awo Yeremiya n'amugamba nti, “ Mukama takyayita linnya lyo Pasukuli wabula akuyita Magolumissabibu.
4
Kubanga bw'ati bw'ayogera Mukama nti, Laba, ndikufuula eky'entiisa eri ggwe kennyini n'eri mikwano gyo bonna. Baligwa n'ekitala eky'abalabe baabwe, n'amaaso go galikiraba, era ndiwaayo Yuda yenna mu mukono gwa kabaka w'e Babbulooni, naye alibatwala e Babbulooni nga basibe, era alibatta n'ekitala.
5
Era nate ndiwaayo obugagga bwonna obw'omu kibuga kino n'amagoba gaamu gonna n'ebintu byamu byonna eby'omuwendo omungi, weewaawo, ebintu byonna ebya bassekabaka ba Yuda ndibiwaayo mu mukono gw'abalabe baabwe, abalibanyaga ne babakwata ne babatwala e Babbulooni.
6
Naawe, Pasukuli, n'abo bonna abali mu nnyumba yo baligenda mu busibe; era olituuka e Babbulooni, olifiira eyo, oliziikibwa eyo, ggwe ne mikwano gyo bonna be wagamba eby'obulimba.”
7
Ayi Mukama, wannimba era nange ne nnimbibwa, onsinga amaanyi era ompangudde. Nfuuse ekisekererwa okuzibya obudde, buli muntu ankudaalira.
8
Kubanga buli lwe njogera, njogerera waggulu nti, “Okunyaga n'okuzikiriza!” Kubanga ekigambo kya Mukama kifuuse gyendi ekivume era eky'okusekererwa okuzibya obudde.
9
Era bwe njogera nti, “Siimwogereko, so sikyayogerera mu linnya lye, kale mu mutima gwange muba ng'omuli omuliro ogubuubuuka ogusibibwa mu magumba gange, era nga nkooye okuguwanirira, era sisobola.”
10
Kubanga mpulira obwama. Entiisa eri ku buli ludda! “Mu mwegaane! Muleke tumwegaane!” Bwe boogera mikwano gyange ennyo bonna, nga balindirira okugwa kwange. “Oboolyawo anaasendebwasendebwa, naffe tunaamuwangula, era tulimuwalanako eggwanga.”
11
Naye Mukama ali nange ng'ow'amaanyi ow'entiisa; abanjigganya kyebaliva beesittala so tebaliwangula, baliswala nnyo, kubanga tebakoze bya magezi, balikwatibwa ensonyi ezitaliggwaawo eziteerabirwenga ennaku zonna.
12
Naye, ayi Mukama w'eggye, akema omutuukirivu, alaba emmeeme ey'omunda, nsaba ndabe eggwanga lyo ly'oliwalana ku bo; kubanga gyoli gye ntadde ensonga yange.
13
Muyimbire Mukama, mutendereze Mukama! Kubanga awonyezza emmeeme y'oyo eyeetaaga mu mukono gw'abo abakola obubi.
14
Lukolimirwe olunaku lwe nnazaalirwako! Olunaku mmange kwe yanzaalira luleme okuweebwa omukisa.
15
Akolimirwe oyo eyaleetera kitange amawulire agamusanyusa nti, “Ozaaliddwa mwana wa bulenzi.”
16
Era omusajja oyo abeere ng'ebibuga Mukama bye yasuula nga tasaasidde; awulire okukaaba enkya, n'okwogerera waggulu mu ttuntu;
17
kubanga teyanzita bwe nali nkyali mu lubuto; bw'atyo mmange yandibadde entaana yange, n'olubuto lwe lwandibadde lukulu ennaku zonna.
18
Naviira ki mu lubuto okulaba okutegana n'obuyinike, era n'okumala ennaku zange zonna mu nsonyi?
Luganda Bible LBR
Bible Society of Uganda.
:
Save Notes