BIBULIYA ENTUKUVU
|
| 1 |
| “Zibasanze abasumba abazikiriza n'okusaasaanya eggana ly'omu ddundiro lyange!” Omukama y'agamba. |
| 2 |
| N'olw'ekyo, Omukama, Katonda wa Yisirayeli, kino ky'agamba ku basumba abalunda eggana lyange: “Eggana lyange mulibunyizza emiwabo endiga ne muzigobera eyo, temufuddeeyo kuzirabirira. Nange nno nzija kubeekwatiramu olw'ebikolwa byammwe ebibi,” Omukama y'agamba. |
| 3 |
| “Nze kennyini nzija kwekuŋŋaanyiza zikaawonawo mu ndiga zange, nziggye eyo yonna mu nsi, gye nazigobera, nzizze mu malundiro gaazo; zirizaala ne zaala. |
| 4 |
| Ndizissaako abasumba ne bazirunda; teziriddamu kutya na kutekemuka; tekulibulako n'emu,” Omukama y'agamba. |
| 5 |
| “Laba, ennaku zijja,” Omukama y'agamba, “lwe nnaasibusiza Dawudi Ettabi ettuufu; kabaka alifuga, aliramuza magezi, alikola ebikolwa eby'obutuukirivu n'obutuufu mu nsi. |
| 6 |
| Mu bbanga lye Yuda alirokolebwa, ne Yisirayeli alituula ntende. Lino lye linnya lye balimuyita: 'Mukama bwe Butuukirivu bwaffe'. |
| 7 |
| Awo nno ennaku zijja,” Omukama y'agamba, “abantu nga tebakyagamba nti: ‘Mazima Omukama nga mulamu, eyaggya abantu ba Yisirayeli mu nsi y'e Misiri,’ |
| 8 |
| wazira nti ‘Mazima Omukama nga mulamu, eyaggya Abayisirayeli mu nsi y'emambuka, ne mu nsi zonna gye yali abagobedde.’ Olwo balibeera mu nsi yaabwe.” |
| 9 |
| Ku balanzi: Omutima gwange gummenyese muli munda; amagumba gange gonna gankubagana; nfuuse ng'omutamiivu, ng'ow'omwenge gwe gugoyezza, olw'okubeera Omukama n'olw'ebigambo bye ebitukuvu. |
| 10 |
| Kubanga ensi ejjudde abenzi; olw'okuvumirirwa, ensi ekungubaga; n'amalundiro mu malungu gakaze. Bakutte ekkubo ebbi, n'obuyinza bwabwe tebugoba bwenkanya. |
| 11 |
| “Abalanzi ne bakabona temukyali ddiini, ne mu Kiggwa kyange nsangamu bwonoonefu bwabwe,” Omukama y'agamba. |
| 12 |
| “N'olw'ekyo ekkubo lyabwe liriseerera; bajja kugobebwa mu nzikiza, eyo gye baligwira. Ŋŋenda kubaleetera akabi mu mwaka mwe balibonerezebwa.” Omukama y'agamba. |
| 13 |
| “Mu balanzi b'e Samariya nalabamu obukopi: baalanganga ku lwa Baali, ne bawubisa abantu bange Yisirayeli. |
| 14 |
| Mu balanzi ab'omu Yeruzaalemu nalabamu ekyesisiwaza: bakola obwenzi era batambulira mu bulimba. Bawagira abakola obubi, bwe kityo ne wataba n'omu ava mu nsobi ze. Bonna bandabikira nga Sodoma, abantu baamu, nga Gomorra.” |
| 15 |
| N'olw'ekyo, Omukama w'Amagye kino ky'agamba ku balanzi: “Nange abantu bano ŋŋenda kubaliisa omususa, mbanywese n'amazzi agalimu obutwa, kubanga mu balanzi ab'omu Yeruzaalemu, obugwenyufu mwe buvudde okusaasaanira ensi eno yonna.” |
| 16 |
| Omukama w'Amagye kino ky'agamba: “Temuwuliriza bya balanzi bye balanga gye muli; babagumaaza bugumaaza. Boogera bye bafumbiridde mu mitima gyabwe, tebiva mu kamwa ka Mukama. |
| 17 |
| Bagamba lunye abo abannyooma nti: ‘Omukama agambye nti: “Muliba n'emirembe.” ’ Na buli agoberera obukakanyavu bw'omutima gwe omubi bamugamba nti: ‘Tewali kabi kalikugwira.’ ” |
| 18 |
| Naye nno, ani ku abo eyali atudde mu lukiiko lw'Omukama n'alaba era n'awulira ekigambo kye? Ani yali ategerezza n'awulira ekigambo kye? |
| 19 |
| Mwegendereze! Omuyaga gw'Omukama! Obusungu bwe busituse, kikuŋŋunta ow'akazimu ajja kwebongera ku mitwe gy'ababi. |
| 20 |
| Obusungu bw'Omukama tebuddirire okutuusa ng'amalirizza, ng'atuukirizza omutima gwe bye gutegese. Gye bujja ky'aliko mulikitegeera bulungi. |
| 21 |
| Situmanga balanzi bo, naye bo badduka; soogeranga gye bali, naye bo balanga. |
| 22 |
| Singa baaliko mu lukiiko lwange, bandirangiridde ebigambo byange eri abantu bange ne babaggya mu kkubo lyabwe ebbi ne mu bikolwa byabwe ebibi. |
| 23 |
| Ndi Katonda nga ndi kumpi kyokka, Omukama y'agamba, nga ndi ewala siri Katonda? |
| 24 |
| Oli ayinza okwekweka gye weekukuma nze ne simulaba? Si nze ajjuza eggulu n'ensi? |
| 25 |
| “Nawulira abalanzi bye balanga, abo abalanga eby'obulimba mu linnya lyange, nga bagamba mbu: ‘Naloose, naloose!’ |
| 26 |
| Obulimba bunaatuusa wa obubeera mu mitima gy'abalanzi abalanga eby'obulimba, abalanga bye bamaze gafumbirira mu mitima gyabwe? |
| 27 |
| Balowooza nti ebirooto bye banyumizagana bineerabiza abantu erinnya lyange, nga bajjajjaabwe bwe beerabira erinnya lyange olwa Baali. |
| 28 |
| Omulanzi alina ekirooto anyumye ekirooto kye, naye oyo alina ekigambo kyange ayogere ekigambo kyange mu mazima. Abaffe, ebisusunku bifaanana ng'eŋŋano, Omukama y'agamba, |
| 29 |
| ekigambo kyange tekiri nga muliro, Omukama y'agamba, tekiri nga nnyondo eyasaayasa olwazi obulere? |
| 30 |
| “Awo nno, nnwanyisa abalanzi,” Omukama y'agamba, “ababbaŋŋana ebigambo byange. |
| 31 |
| Era nnwanyisa abalanzi,” Omukama y'agamba, “abatolobya ennimi zaabwe ne bagenda nga balangirira mbu: ‘Omukama agambye.’ |
| 32 |
| Nnwanyisa abalanzi abalanga ebirooto eby'obulimba;” Omukama y'agamba, “babinyumya ne bawubisa abantu bange n'obulimba bwabwe nga bwe beetenda nnyini. Sibatumanga yadde okubalonda; sibalina na kye baali bagasizzaamu bantu bano n'akatono,” Omukama bw'agamba. |
| 33 |
| “Abantu bano, oba omulanzi, oba kabona, singa bakubuuza nti: ‘Omugugu gw'Omukama guluwa?’ ggwe obaddangamu nti: ‘Mmwe mugugu era nzija kubeetikkula, Omukama y'agamba.’ |
| 34 |
| “Singa omulanzi, oba kabona, oba omuntu omulala yenna alyogera nti: ‘Mugugu gwa Mukama’, ŋŋenda kubonereza omuntu oyo n'ennyumba ye. |
| 35 |
| Kino nno kye muba mugambagana, buli omu agambe munne oba muganda we nti: ‘Omukama azzeemu ki?’ oba nti: ‘Omukama ayogedde ki?’ |
| 36 |
| Naye ekya ‘Mugugu gwa Mukama’ temukijjukizanga nate, kubanga buli kigambo oli ky'ayogera gwe guliba omugugu gwe. Bwe mutyo bwe mukyusakyusa ebigambo bya Katonda omulamu, Omukama w'Amagye, Katonda waffe. |
| 37 |
| Bw'oti nno bw'onoogamba omulanzi nti: ‘Omukama akuzzeemu ki?’ oba nti: ‘Omukama ayogedde ki?’ |
| 38 |
| Kubanga mugamba nti ‘Mugugu gwa Mukama’, Omukama kino nno ky'agamba: kubanga mukozesezza enjogera nti: ‘Mugugu gwa Mukama’, sso nga nabalabula nti temuddayo ne mwogera nti: ‘Mugugu gwa Mukama’, |
| 39 |
| nzija kubasitula, mbakanyuge eri okuva mu maaso gange, wamu n'ekibuga kye nali mpadde mmwe ne bajjajjammwe. |
| 40 |
| Ndibaleetera okusonyiwala okw'emirembe gyonna, n'obuswavu obutalikoma era obutalyerabirwa.” |
|
| Gaabu Hantumya |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/lugandabibu1/jeremiah/023.mp3
52
23