Luganda Bible 2003
|
| 1 |
| Awo Mukama n'andaga ebisero bibiri eby'emitiini, nga biteekeddwa mu maaso g'Essinzizo. Ekyo kyaliwo nga Nebukadunezzari kabaka wa Babilooni amaze okuggya mu Yerusaalemu Kabaka Yekoniya, mutabani wa Yehoyakiimu, n'amutwala mu buwaŋŋanguse, awamu n'abakulembeze ba Buyudaaya, n'abakungu, era n'abamanyirivu mu mirimu. |
| 2 |
| Ekisero ekisooka, kyalimu emitiini emirungi, egisooka okwengera. Ekirala kyalimu emitiini emibi ennyo, egitayinza kuliika. |
| 3 |
| Awo Mukama n'aŋŋamba nti: “Yeremiya, olaba ki?” Ne nziramu nti: “Ndaba emitiini emirungi ennyo, ate n'emibi ennyo egitayinza kuliika.” |
| 4 |
| Awo Mukama n'aŋŋamba nti: |
| 5 |
| “Nze Mukama, Katonda wa Yisirayeli, ndaba ng'abantu be nasindiikiriza okuva mu Buyudaaya, ne batwalibwa mu nsi y'Abakaludaaya, bali ng'emitiini emirungi. |
| 6 |
| Era ndibakwatirwa ekisa, ne mbakomyawo mu nsi eno. Ndibazimba ne sibaabuluza. Ndibasimba ne sibasimbula. |
| 7 |
| Ndibaagazisa okumanya nga Nze Mukama. Banaabanga bantu bange, ne mba Katonda waabwe, kubanga balidda gye ndi n'omutima gwabwe gwonna. |
| 8 |
| “Naye Kabaka Zeddeekiya owa Buyudaaya n'abakungu be, n'abantu b'omu Yerusaalemu, abaasigala mu nsi eno, oba abaddukira mu nsi y'e Misiri, Nze Mukama, bonna ndibayisa ng'emitiini gino emibi egitayinza kuliika. |
| 9 |
| Ndibatuusaako akabi, amawanga gonna ku nsi galyoke gatye. Abantu balibavuma, ne babayisizaako engero, ne babasekerera, era ne bakozesanga erinnya lyabwe nga bakolima, buli gye ndibasaasaanyiza. |
| 10 |
| Ndisindika mu bo olutalo n'enjala n'endwadde, okutuusa lwe baliggwaawo mu nsi gye nabawa bo ne bajjajjaabwe.” |
| Save Notes |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/luganda2003/jeremiah/024.mp3
52
24