×

BIBULIYA ENTUKUVU

Yeremiya 24

1
Oluvannyuma nga Nebukadurezzari kabaka w'e Babiloni amaze okuggya mu Yeruzaalemu Yekoniya, mutabani wa Yoyakimu kabaka wa Yuda n'amutwala mu buwaŋŋanguse e Babiloni, wamu n'abakungu, abafundi n'abaweesi ba Yuda, Omukama yanjoleka ebisero bibiri ebijjudde entontogolo z'emikunyu nga bitegekeddwa mu maaso g'Ekiggwa ky'Omukama,
2
Ekisero ekimu kyalimu entontogolo ennungi ennyo, ng'ezo ezisooka okwengera; ekirala kyalimu entontogolo embi, nga mbi nnyo tezisobola na kuliika.
3
Omukama n'aŋŋamba nti: “Olaba ki, Yeremiya?” Ne nziramu nti: “Ntontogolo; ennungi nnungi nnyo; embi mbi nnyo tezisobola na kuliika.”
4
Ekigambo ky'Omukama ne kijja gye ndi nti:
5
“Omukama Katonda wa Yisirayeli kino ky'agamba: ‘Ng'entontogolo zino ennungi bwe ziri, bwe ntyo bwe ndaba obulungi bw'abasibe ba Yuda be naggya kuno ne mbatwala mu nsi y'Abakaludeya,
6
ŋŋenda kubassaako amaaso gange ku lw'obulungi bwabwe; ndibazza mu nsi eno. ŋŋenda kubazimba buggya, sso si kubazimbulula; nzija kubasimba, sso si kubasimbula.
7
Ndibawa omutima bantegeere nti nze Mukama. Balibeera bantu bange, nange ndibeera Katonda waabwe, kubanga balidda gye ndi n'omutima gwabwe gwonna.
8
“ ‘Naye ng'entontogolo embi bwe ziba, embi ennyo ezitasobola na kuliika,’ Omukama y'agamba, ‘nange bwe ntyo bwe ndikola Zedekiya kabaka wa Yuda, abakungu be, n'abalala ab'omu Yeruzaalemu, babe nga baasigala mu nsi muno oba nga bali mu Misiri.
9
Ndibafuula ekyesisiwaza, ekibi mu bwakabaka bwonna mu nsi, ekivumo, eky'okwogerako, eky'okusekerera n'ekikolimo yonna gye ndibagobera.
10
Ndibasindikira ekitala n'enjala ne kawumpuli, okutuusa nga basaanyiziddwaawo ddala okuva mu nsi gye nali mbawadde, bo ne bajjajjaabwe.’ ”
Luganda Bible
BIBULIYA ENTUKUVU SECOND EDITION The Bible Society of Uganda, 2018.
:
Gaabu Hantumya