Yekoyakini mutabani wa Yekoyakimu kabaka wa Yuda n’abakungu, n’abaweesi n’abafundi ba Yuda bwe baatwalibwa kabaka Nebukadduneeza mu buwaŋŋanguse mu Babulooni okuva mu Yerusaalemi, Mukama yandaga ebibbo bibiri eby’emitiini nga biteekeddwa mu maaso ga yeekaalu ya Mukama.
“Bw’ati bw’ayogera Mukama, Katonda wa Isirayiri nti, ‘Ng’ettiini zino ennungi, ndaba nti abawaŋŋanguse b’omu Yuda balungi, be natwala okuva mu kifo kino eri mu nsi ey’Abakaludaaya.
“ ‘Naye ng’ettiini embi, embi ennyo ezitayinzika kuliika, bwe ntyo bwe nnaakola Zeddekiya kabaka wa Yuda, n’abakungu be n’abo abaasigalawo mu Yerusaalemi, oba abaasigalawo mu nsi eno oba abo ababeera mu Misiri,’ bw’ayogera Mukama.
‘Ndibafuula kyennyinnyalwa era eky’omuzizo eri amawanga g’ensi, eky’okusekererwa era olugero obugero, ekintu eky’okusekererwa era eky’okukolimirwanga yonna gye nnaabagoberanga.