Yimusa amaaso go eri ensozi ez'obweru olabe; we batasulira naawe wa? Wabatuulirira ku mabbali g'ekkubo, ng'Omuwalabu mu ddungu; era wayonoona ensi n'obwenzi bwo n'obubi bwo.
Era nate Mukama n'aŋŋambira mu mirembe gya Yosiya kabaka nti Olabye ekyo Isiraeri eyaseeseetuka ky'akoze? alinnye ku buli lusozi oluwanvu ne wansi wa buli muti omubisi, ne yeefuulira eyo omwenzi.
Ne ndaba, bwe nnamala okugoba Isiraeri eyaseeseetuka ne mmuwa ebbaluwa ey'okumugoba olw'ensonga eno kubanga ayenze, era naye Yuda ow'enkwe mwannyina n'atatya; naye era naye n'agenda ne yeefuula omwenzi.
Komawo, mmwe abaana abadda ennyuma, bw'ayogera Mukama; kubanga nze bbammwe: era ndibatwala nga nziya omu ku kibuga n'ababiri ku kika, ne mbaleeta e Sayuuni:
Awo olulituuka bwe muliba nga mwaze era nga mweyongedde mu nsi, kale mu biro ebyo, bw'ayogera Mukama, nga tebakyayogera nti Essanduuko ey'endagaano ya Mukama; so teriyingira mu mwoyo gwabwe; so tebaligijjukira; so tebaligikyalira; so tebalikola nate bwe batyo.
Mu biro ebyo ennyumba ya Yuda eritambulira wamu n'ennyumba ya Isiraeri, era baliviira wamu mu nsi ey'obukiika obwa kkono ne bayingira mu nsi gye nnawa bajjajjammwe okuba obusika.
Naye ne njogera nti Ndikuteeka ntya mu baana, ne nkuwa ensi ey'essanyu, obusika obulungi mu ggye ly'amawanga? ne njogera nti Mulimpita nti Kitange; so temulikyuka obutangoberera.