BIBULIYA ENTUKUVU
|
| 1 |
| Kino kye kigambo ekyajja eri Yeremiya okuva ew'Omukama nti: |
| 2 |
| “Omukama, Katonda wa Yisirayeli kino ky'agamba: ‘Wandiika mu kitabo ebigambo byonna bye nkugambye. |
| 3 |
| Ennaku zijja, Omukama y'agamba, nzigye mu busibe abantu bange Yisirayeli ne Yuda, mbazze mu nsi gye nawa bajjajjaabwe ebeere yaabwe, Omukama y'ayogera.’ ” |
| 4 |
| Bino bye bigambo Omukama bye yagamba Yisirayeli ne Yuda: |
| 5 |
| “ ‘Omukama kino ky'agamba: Twawulira enduulu ez'akasattiro; za ntiisa, si za ddembe. |
| 6 |
| Mwebuuze nno mwetegereze: Omusajja ayinza okuzaala omwana? Lwaki ate ndaba nga buli musajja emikono gimuli ku lubuto ng'omukazi alumwa? Lwaki amaaso gabapeeruuse? |
| 7 |
| Kitalo, olunaku olwo nga luliba lwa kikuuno! Tewali lulirwenkana; luliba budde bwa kabi ku Yakobo; kyokka aliwonyezebwa. |
| 8 |
| “ ‘Ku olwo, Omukama w'Amagye y'ayogera, ndikutula ekikoligo ekibali mu bulago, ndikutula enjegere zaabwe; abagwira tebalibafuula baddu nate; |
| 9 |
| wazira baliweerezanga Omukama Katonda waabwe ne Dawudi kabaka waabwe gwe ndibasitusiza. |
| 10 |
| “ ‘Awo nno, Yakobo omuweereza wange, leka kutya; Yisirayeli, totekemuka,’ Omukama y'agamba, ‘ŋŋenda kukununula mu nsi ey'ewala, n'ezzadde lyo ndiggye mu nsi gye lyasibirwa. Yakobo agenda kudda, atebenkere, abeere mu ddembe; tewaliba amukanga. |
| 11 |
| Kubanga ndi naawe okukuwonya,’ Omukama y'agamba, ‘ndisaanyizaawo ddala amawanga gonna, gye nakusaasaanyiza; wazira ggwe sirikusaanyizaawo ddala. Ndikubonereza ekisaanidde, kyokka sirikulekera awo nga sikubonerezza.’ |
| 12 |
| “Omukama agamba nti: Obuvune obubwo si bwa kuwona; ekiwundu kyo kikookodde. |
| 13 |
| Tewali wa kuwuliriza nsonga zo; ekiwundu kyo tekiriiko kuvumula; ku ggwe teri kuwona. |
| 14 |
| Abaali baganzi bo bonna bakwerabidde, tebakufaako. Nakukuba ng'omulabe bwe yandikukubye, ng'omukambwe bwe yandikubonerezza. Kubanga omusango gwo munene bulala, n'ebibi byo byayitirira obungi. |
| 15 |
| Lwaki olaajana olw'ekiwundu kyo, olw'obulumi bwo obutali bwa kuwona? Olw'omusango omunene n'ebibi byo ebingi, kyennava nkukola ekyo. |
| 16 |
| Kyokka abo bonna abaakukavvula, balikavvulibwa; n'abalabe bo bonna baliwaŋŋangusibwa, buli omu; abo abaakunyaga, balinyagibwa; na bonna abaakwaya, nabo baliyaayibwa. |
| 17 |
| Ndikuwonya ne nkuzzaawo, ndiwonya ekiwundu kyo,” Omukama y'agamba, “kubanga bakuyita ‘Omuboole, Siyoni, atalina amufaako’. |
| 18 |
| “Omukama kino ky'agamba: ‘Nzija kuzzaawo weema za Yakobo, ndiddiramu ebisulo bye. Ekibuga kirizzibwawo we kibadde entuumu, n'olubiri lulizzibwa mu kifo kyalwo. |
| 19 |
| Mu bo mulivaamu ennyimba ez'ettendo, n'amaloboozi g'abajaguza. Ndibafuula bangi, tebalikendeera; ndibagulumiza, tebalinyoomebwa. |
| 20 |
| Abaana baabwe baliba nga bwe gwalinga edda; n'ekibiina kyabwe kirikakata mu maaso gange; ndibonereza bonna ababatulugunya. |
| 21 |
| Omukungu waabwe aliva mu bo, alibafuga alisituka mu bo, nzija kumusembeza, naye alinsemberera. Anti ani alyewaayo okunsemberera?’ Omukama y'ayogera. |
| 22 |
| “ ‘Olwo mulibeera bantu bange, nange ne mba Katonda wammwe.’ ” |
| 23 |
| Mwegendereze! Omuyaga gw'Omukama! Obusungu bwe busituse, kikuŋŋunta ow'akazimu ajja kwebongera ku mitwe gy'ababi. |
| 24 |
| Obusungu bw'Omukama obwesera tebuulekere awo okutuusa ng'amalirizza, ng'atuukirizza omutima gwe bye gutegese. Gye bujja ky'aliko mulikitegeera. |
|
| Gaabu Hantumya |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/lugandabibu1/jeremiah/030.mp3
52
30