Kubanga bw’ati bw’ayogera Mukama, Katonda wa Isirayiri ku mayumba agali mu kibuga kino era ne ku mbiri z’obwakabaka bwa Yuda ebyamenyebwamenyebwa okukozesebwa ng’entuumo eziziyiza obulumbaganyi n’ekitala
mu lutalo n’Abakaludaaya. ‘Birijjula emirambo gy’abasajja be nditta olw’obusungu bwange n’ekiruyi. Ndikweka amaaso gange okuva ku kibuga kino olw’obutali butuukirivu bwabwe bwonna.
“Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, ‘Mwogera ku kifo kino nti, “Matongo agaalekebwa awo, omutali bantu wadde ensolo.” Ate nga mu bibuga bya Yuda n’enguudo za Yerusaalemi ezalekebwawo omutali bantu wadde ensolo, muliddamu okuwulirwa nate
“Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, ‘Bw’oba osobola okumenya endagaano yange n’emisana era n’endagaano yange n’ekiro, ne kiba nti emisana n’ekiro tebijja mu biseera byabyo ebyateekebwawo,
olwo endagaano yange ne Dawudi omuddu wange, n’endagaano yange n’Abaleevi, ne bakabona, n’abaweereza bange eyinza okumenyebwa, Dawudi aleme kuddayo kuba na muntu wa mu nju ye okufuga ku ntebe ye ey’obwakabaka.
olwo nzija kwegaana ezzadde lya Yakobo ne Dawudi omuddu wange era sirironda n’omu ku batabani be okufuga ezzadde lya Ibulayimu, ne Isaaka ne Yakobo. Kubanga ndizzaawo nate emikisa gyabwe, era ne mbakwatirwa ekisa.’ ”