Kale laga mu nnyumba ya Mukama ku lunaku olw’okusiiba osomere abantu ebigambo bya Mukama ebiri ku muzingo by’owandiise nga njogera. Bisomere abantu ba Yuda bonna abava mu bibuga byabwe.
Oboolyawo banaaleeta okwegayirira kwabwe eri Mukama, era buli omu anaava mu makubo ge amabi, kubanga obusungu n’ekiruyi Mukama by’agambye okutuusa ku bantu bano binene nnyo.”
Mu mwezi ogwomwenda ogw’omwaka ogwokutaano ogw’obufuzi bwa Yekoyakimu mutabani wa Yosiya kabaka wa Yuda, ekiseera eky’okusiibira mu maaso ga Mukama kyalangirirwa eri abantu bonna mu Yerusaalemi era n’abo abaali bavudde mu bibuga bya Yuda.
Awo ng’abantu bonna bawulira, Baluki n’asoma ebigambo bya Yeremiya okuva mu muzingo, mu nnyumba ya Mukama ng’ali mu kisenge kya Gemaliya mutabani wa Safani omuwandiisi, ekyali mu luggya olw’ekyengulu, mu mulyango omuggya ogw’ennyumba ya Mukama ng’abantu bonna bawulira.
n’agenda eri ennyumba y’omuwandiisi mu lubiri lwa kabaka, abakungu bonna gye baali batudde: Erisaama omuwandiisi, ne Deraya mutabani wa Semaaya, ne Erunasani mutabani wa Akubooli, ne Gemaliya mutabani wa Safani, ne Zeddekiya mutabani wa Kananiya, n’abakungu bonna abalala.
abakungu bonna ne batuma Yekudi mutabani wa Nesaniya, mutabani wa Seremiya mutabani wa Kuusi eri Baluki amugambe nti, “Leeta omuzingo gw’osomedde abantu, naawe ojje.” Awo Baluki mutabani wa Neriya n’atwalira omuzingo mu mikono gye n’agubaleetera.
Naye kabaka yalagira Yerameeri mutabani wa kabaka ne Seraya mutabani wa Azulyeri ne Seremiya mutabani wa Abudeeri okukwata Baluki omuwandiisi ne nnabbi Yeremiya, wabula Mukama ng’abakwese.
Noolwekyo bw’ati bw’ayogera Mukama eri Yekoyakimu kabaka wa Yuda nti, Tajja kubeera na muntu n’omu kutuula ku ntebe ya Dawudi, n’omulambo gwe gulisuulibwa ebweru gwanikibwe mu musana emisana ne mu butiti ekiro.
Ndimubonereza n’abaana be, ne bakalabaalaba be olw’okwonoona kwabwe. Ndimuleetako ne bonna ababeera mu Yerusaalemi ne bonna ababeera mu Yuda buli kibonoobono kye naboogerako, kubanga tebawulirizza.’ ”