BIBULIYA ENTUKUVU
|
| 1 |
| Zedekiya mutabani wa Yosiya, yasikira Koniya mutabani wa Yoyakimu; Nebukadurezzari ye yamusikiza ku bwakabaka bwa Yuda. |
| 2 |
| Naye ye, abakungu be, yadde abantu b'omu nsi tewaali yassa mwoyo ku bigambo Omukama bye yayogerera mu muweereza we Yeremiya omulanzi. |
| 3 |
| Kabaka Zedekiya n'atuma Yukali mutabani wa Selemiya ne kabona Zefaniya mutabani wa Maaseeya eri Yeremiya omulanzi bamugambe nti: “Tukwegayiridde tusabire ew'Omukama Katonda waffe.” |
| 4 |
| Mu bbanga eryo Yeremiya yasobolanga okugendanga mu bantu n'okudda mu ddembe; baali tebannamussa mu kkomera. |
| 5 |
| Eggye lya Faraawo lyali lisitudde okuva mu Misiri; Abakaludeya abaali bazinze Yeruzaalemu olwakiwulira, ne bagumbulukuka ku Yeruzaalemu. |
| 6 |
| Ekigambo ky'Omukama ne kijjira Yeremiya omulanzi, nga kigamba nti: |
| 7 |
| “Omukama, Katonda wa Yisirayeli, kino ky'agamba: Kabaka wa Yuda akutumye gye ndi okunneebuuzaako mugambe nti: ‘Eggye lya Faraawo eribadde lijja okubayamba, lijja kuddayo mu nsi yaalyo Misiri. |
| 8 |
| Ate olwo Abakaludeya bagenda kukomawo, balumbe ekibuga kino, bakiwangule era bakiteekere omuliro.’ |
| 9 |
| Omukama kino ky'agamba: Muleke kwerimba nga mugamba nti: ‘Abakaludeya bagenda kutuviirako ddala.’ Bwereere, si ba kuddayo. |
| 10 |
| Ne bwe mwandibadde nga muvunjaze Abakaludeya bonna ababalwanyisa, abaafumitibwa bokka abasigaddewo, bandisituse buli kinnoomu okuva mu weema zaabwe ne bookya ekibuga kino.” |
| 11 |
| Eggye ly'Abakaludeya bwe lyamala okugumbulukuka e Yeruzaalemu olw'okutya eggye lya Faraawo, |
| 12 |
| Yeremiya n'asituka okuva mu Yeruzaalemu agende mu nsi ya Benyamiini agabane ekitundu kye mu bantu baayo. |
| 13 |
| Naye bwe yatuuka ku mulyango gwa Benyamiini, omukulu w'abakuumi ayitibwa Yiriya mutabani wa Selemiya, mutabani wa Ananiya, n'akwata Yeremiya omulanzi nga bw'agamba nti: “Oddukira mu Bakaludeya.” |
| 14 |
| Yeremiya n'addamu nti “Si kituufu. Siddukira mu Bakaludeya.” Naye Yiriya teyawuliriza, yakwata bukwasi Yeremiya n'amutwala eri abakungu. |
| 15 |
| Ne basunguwalira Yeremiya, ne bamukuba, ne bamussa mu kkomera, mu nnyumba ya Yonatani omuwandiisi, kubanga eyo gye baali bafudde ekkomera. |
| 16 |
| Yeremiya bw'atyo n'asuulibwa mu bunnya obw'obuduukulu. Yamalamu ebbanga ggwanvu. |
| 17 |
| Oluvannyuma kabaka Zedekiya yamutumya n'amuleeta ewuwe mu lubiri, n'amubuuza mu kyama nti: “Waliwo ekigambo kyonna okuva ew'Omukama?” Yeremiya n'addamu nti: “Weekiri.” Ate era n'ayongerako nti: “Ogenda kuweebwayo mu mikono gya kabaka w'e Babiloni.” |
| 18 |
| Awo Yeremiya n'abuuza kabaka Zedekiya nti: “Nabakola kabi ki ggwe n'abaweereza bo, oba abantu bano, mulyoke munsuule mu kkomera? |
| 19 |
| Kati abalanzi bammwe bali ludda wa abaabagambanga nti: ‘Kabaka w'e Babiloni tagenda kujja kubalumba, yadde okulumba ensi eno’? |
| 20 |
| Kaakano, Mukama wange kabaka, kkiriza owulirize, kkiriza okuwanjaga kwange, tonsindika nate mu nnyumba ya Yonatani omuwandiisi, sikulwa nga nfiirayo.” |
| 21 |
| Awo kabaka Zedekiya n'alagira okuteeka Yeremiya mu luggya lw'abakuumi, n'okumuleeteranga buli lunaku omugaati omuvumbike ogw'oluwewere nga guva mu kyalo ky'abafumbiro, okutuusa ng'emmere ebulidde ddala mu kibuga. Yeremiya bw'atyo n'asigala mu luggya lw'abakuumi. |
|
| Gaabu Hantumya |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/lugandabibu1/jeremiah/037.mp3
52
37