Ekigambo ekyajjira Yeremiya ku Bayudaaya bonna abaabeera mu nsi y'e Misiri, abaabeera e Migudooli ne Tapanesi ne Noofu mu nsi ey'e Pasuloosi, nga kyogera nti
Bwati bw'ayogera Mukama w'eggye, Katonda wa Isiraeri, nti Mulabye obubi bwonna bwe naleeta ku Yerusaalemi ne ku kibuga byonna ebya Yuda; era, laba, leero matongo, so tewali muntu abeera omwo;
Era naye nabatumira abaddu bange bonna bannabbi, nga ngolokoka mu makya ne mbatuma, nga njogera nti Abaffe! temukola kigambo kino eky'omuzizo kye nkyawa.
Ekiruyi kyange n'obusungu bwange kyebwava bufukibwa ne bubuubuuka mu bibuga bya Yuda ne mu nguudo ez'e Yerusaalemi; era bizise birekeddwa awo, nga bwe kiri leero.
Tebannaba kumalwamu malala ne leero, so tebannatya, so tebatambulidde mu mateeka gange newakubadde mu biragiro byange bye nnateeka mu maaso gammwe ne mu maaso ga bajjajjammwe.
Obubaane bwe mwayotereza mu bibuga bya Yuda ne mu nguudo ez'e Yerusaalemi, mmwe ne bajjajjammwe, bassekabaka bammwe n'abakungu bammwe, n'abantu ab'omu nsi, Mukama teyabajjukira, so tekyajja mu mwoyo gwe?
Kubanga mwayoteza obubaane, era kubanga mwayonoona Mukama, so temugondedde ddoboozi lya Mukama so temutambulidde mu mateeka ge newakubadde mu biragiro bye newakubadde mu ebyo bye yategeeza; obubi buno kyebuvudde bubatuukako, nga bwe kiri leero.
Era kano ke kanaaba akabonero gye muli, bw'ayogera Mukama, nga ndibabonereza mu kifo kino, mulyoke mumanye ng'ebigambo byange tebirirema kuyimirira gye muli olw'obubi:
bw'ati bw'ayogera Mukama nti Laba, ndiwaayo Falaawo Kofera kabaka w'e Misiri mu mukono gw'abalabe be ne mu mukono gw'abo abanoonya obulamu bwe; nga bwe nnawaayo Zeddekiya kabaka wa Yuda mu mukono gwa Nebukadduleeza kabaka w'e Babulooni omulabe we era eyanoonya obulamu bwe.