Obusungu n'obuswandi bwange kwe kufumbukuka, ne bukoleerera ebibuga bya Yuda ne mu nguudo za Yeruzaalemu, ne bubifuula malungu na matongo, kye biri olwa leero.’
Kale nno Omukama, Katonda w'Amagye, Katonda wa Yisirayeli, kino ky'agamba: ‘Lwaki mwesombera akabi akenkana awo ne mukutulwako mu mmwe abasajja n'abakazi, abato n'abayonka, ne muteerekerawo baasigalawo?
Mwerabidde ebibi bya bakadde bammwe, n'ebya bakabaka ba Yuda ne bakazi baabwe, n'ebyammwe mwennyini n'ebya bakazi bammwe, bye baakola mu nsi ya Yuda ne mu makubo ga Yeruzaalemu?
N'okutuusa ku lunaku lwa leero tebannaba kwenenya yadde okutya, era tebatambulira mu tteeka lyange ne mu biragiro byange bye nalangirira gye muli mwenna n'eri bajjajjammwe.’
Nzija kutwala abaasigalawo mu Yuda, abantu abaasalawo okujja mu nsi y'e Misiri babeere eyo; bonna balisaanirawo eyo mu nsi y'e Misiri; balifa ekitala oba enjala. Okuva ku muto okutuuka ku mukulu balifa ekitala oba enjala ne bafuuka ekikolimo, ekintu eky'entiisa, ekivumo era ekintu eky'okusekerera.
Ku baasigalawo mu Yuda abajja okubeera mu Misiri temuliba bakaawonawo wadde abalisumattuka abalisobola okudda mu nsi ya Yuda gye balumirwa okudda n'okubeera; si ba kuddayo, mpozzi ababudami abatono.’ ”
Awo abantu bonna abaamanya nga bakazi baabwe baanyookezanga balubaale obubaani, n'ebbiina ly'abakazi abalala abaaliwo, n'abantu bonna abaali babeera mu Misiri ne mu Paturosi, ne baanukula ne bagamba nti:
Tujja kukola byonna bye twagamba okukola: okunyookeza Nnaabakyala w'Eggulu obubaani n'okumuyiira ebitambiro nga ffe ne bajjajjaffe bwe twakolanga, era nga bakabaka baffe n'abakungu baffe bwe baakolanga mu bibuga bya Yuda ne mu nguudo za Yeruzaalemu. Mu bbanga eryo twalina emmere nnyingi, nga tuli bulungi era nga tetugwirwa kabi na kamu.
N'abakazi ne bongerako nti: “Bwe twanyookeza Nnaabakyala w'Eggulu obubaani ne tumuweereza n'ebitone eby'okuyiwa, babbaffe baali tebakimanyi nti tumufumbira obugaati mu kifaananyi kye era nga tumuweereza ebitone eby'okuyiwa?”
Kubanga mwanyookeza obubaani ne musobya eri Omukama, ne mutawulira ddoboozi lya Mukama, ne mutatambulira mu tteeka lye, mu biragiro bye, ne mutagoberera by'ayigiriza, akabi kano kyekavudde kabagwira, nga bwe kiri olwa leero.”
Kubanga mbakuumirira lwa kabi sso si lwa bulungi. Abantu bonna aba Yuda abali mu nsi y'e Misiri, bagenda kufa ekitala n'enjala, okutuusa nga bonna bazikiridde.
Abaliba bawonye ekitala, ne bava mu nsi y'e Misiri ne baddayo mu nsi ya Yuda baliba ba muswaba. Abaliba basigaddewo mu Yuda abajja okubeera mu nsi y'e Misiri balimanya ky'ani ekigambo ekirituukirira, ekyange oba ekyabwe?
“ ‘Kano ke kaliba akabonero,’ Omukama y'agamba, ‘kwe munaakakasiza nga bwe ndibabonereza mu kifo kino, olwo mulitegeera nti ebigambo byange ebibawerera akabi bya kutuukirira ddala.’