BIBULIYA ENTUKUVU
|
| 1 |
| Ekigambo Yeremiya omulanzi kye yagamba Baruku mutabani wa Neriya, mu mwaka ogwokuna ogwa Yoyakimu mutabani wa Yosiya kabaka wa Yuda, nga Baruku amaze okuwandiika mu kitabo ebigambo Yeremiya bye yamugambanga: |
| 2 |
| “Baruku, Omukama, Katonda wa Yisirayeli, bino by'akugamba: |
| 3 |
| Wagamba nti: ‘Zinsanze! kubanga Omukama ku nnaku zange agasseeko obulumi; mpweddemu otwanyi olw'okuwoloma; sirina buweerero.’ |
| 4 |
| Bino by'oba omugamba: ‘Omukama kino ky'agamba: Nzija kuzimbulula kye nazimba; nzija kusimbula kye nasimba mu nsi eno yonna. |
| 5 |
| Weenoonyeza bikulu? Tobinoonya, kubanga nzija kuleetera abantu bonna akabi, Omukama y'agamba, naye ggwe yonna gy'onoolaga ojja kusumattukayo ng'oli mulamu.’ ” |
| Save Notes |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/lugandabibu1/jeremiah/045.mp3
52
45