×

Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya

Yeremiya 45

1
Kino kye kigambo nnabbi Yeremiya kye yagamba Baluki mutabani wa Neriya mu mwaka ogwokuna ogw’obufuzi bwa Yekoyakimu mutabani wa Yosiya kabaka wa Yuda, nga Baluki amaze okuwandiika ku muzingo nti,
2
“Bw’ati bw’ayogera Mukama, Katonda wa Isirayiri gy’oli, ggwe Baluki nti,
3
Wagamba nti, ‘Zinsanze. Mukama Katonda agasse ennaku ku bulumi bwange; mpweddemu endasi era zijjudde okusinda n’obutawummula.’ ”
4
Mukama yagamba nti, “Mugambe bw’oti nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti: ndimenya bye nazimba, nkuule bye nasimba, mu ggwanga lyonna.
5
Kale lwaki weenoonyeza ebintu ebirungi? Tobinoonya. Kubanga ndireeta akabi ku bantu bonna, bw’ayogera Mukama Katonda, naye buli gy’olaga nnaakuyambanga osigale ng’oli mulamu.’ ”
Luganda Bible EEEE
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® worldwide.
:
Save Notes