Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya
|
| 1 |
| Kino kye kigambo kya Mukama Katonda ekyajjira nnabbi Yeremiya ekikwata ku Bafirisuuti nga Falaawo tannalumba Gaza nga kigamba nti: |
| 2 |
| Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, “Laba amazzi agatumbira mu bukiikakkono, galifuuka omugga ogwanjaala. Galyanjaala ku nsi ne mu bibuga byonna ebigirimu n’ababituulamu. Abantu balikaaba; bonna abali mu nsi baliwowoggana. |
| 3 |
| Olw’emisinde gy’embalaasi ezidduka n’okufuumuuka kw’amagaali g’omulabe era n’okuwuuma kwa nnamuziga, bakitaabwe tebajja kukyuka kuyamba baana baabwe, emikono gyabwe gya kulebera. |
| 4 |
| Kubanga olunaku lutuuse okuzikiriza Abafirisuuti bonna, n’okusalako bonna abandisigaddewo abandiyambye Ttuulo ne Sidoni. Mukama wa kuzikiriza Abafirisuuti abaasigalawo ku mbalama z’ekizinga Kafutoli. |
| 5 |
| Gaza alimwa omutwe gwe ng’akungubaga. Asukulooni alisirisibwa. Ggwe eyasigala mu kiwonvu, olituusa ddi okwesalaasala? |
| 6 |
| “ ‘Ayi ggwe ekitala kya Mukama Katonda, okaaba, obudde bunaatuuka ddi owummule? Ddayo mu kiraato kyo sirika teweenyeenya.’ |
| 7 |
| Naye kiyinza kitya okuwummula nga Mukama y’akiragidde, ng’akiragidde okulumba Asukulooni n’olubalama lw’ennyanja?” |
| Save Notes |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/lugandaeeee/jeremiah/047.mp3
52
47