EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI
|
| 1 |
| Ekigambo kya Mukama ekyajja eri Yeremiya nnabbi, ekikwata ku Bafirisuuti, Falaawo nga tannakuba Gaza. |
| 2 |
| Bw'ati bw'ayogera Mukama nti, “ Laba, amazzi gatumbiira agava obukiikakkono, era galifuuka mugga ogwanjaala, era galyanjaala ku nsi ne byonna ebigirimu, ekibuga n'abo abakituulamu; n'abantu balikaaba, n'abo bonna ababeera mu nsi balikungubaga. |
| 3 |
| Olw'omusinde gw'ebinuulo by'embalaasi, n'okuwulukuka kw'amagaali ge, n'okuvuuma kwa bannamuziga be, bakitaabwe kyebaava balema okutunula emabega eri abaana baabwe, olw'okuba emikono gyabwe gifuuse minafu; |
| 4 |
| olw'olunaku olujja okuzikiriza Abafirisuuti, n'okusala ku Ttuulo ne Sidoni buli muyambi asigaddewo; kubanga Mukama alizikiriza Abafirisuuti, abasigaddewo ku kizinga Kafutooli. |
| 5 |
| Abantu be Gaza bamweddeko enviiri zaabwe olw'okukungubaga; Asukulooni amaliddwawo. Mmwe ekitundu ekifisseewo ab'omu kiwonvu mulituusa wa okwesala? |
| 6 |
| Ayi ggwe ekitala kya Mukama! Olituusa wa obutatereera? Ddayo mu kiraato kyo, wummula osirike. |
| 7 |
| Naye kinaawummula kitya nga Mukama akiragidde okukola! Okulumba Asukulooni era n'olubalama lw'ennyanja.” |
| Save Notes |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/lugandalbr/jeremiah/047.mp3
52
47