Eby'abaana ba Amoni. Bw'ati bw'ayogera Mukama nti Isiraeri talina baana ba bulenzi? talina musika? kale Malukamu kiki ekimuliisizza Gaadi, n'abantu be batuula mu bibuga byayo?
Wowoggana, ggwe Kesubootu, kubanga Ayi kinyagiddwa; mukaabe, mmwe abawala ba Labba, mwesibe ebibukutu, mukungubage, mudduke nga mubuna emiwabo mu bisaakaate; kubanga Malukamu aligenda mu busibe, bakabona be n'abakungu be wamu.
Naye nze mmwambudde Esawu, mbikkudde ku bifo bye eby'ekyama, so taliyinza kwekweka: ezzadde lyo linyagiddwa ne baganda be ne baliraanwa be, so ye taliiwo.
Laba, alyambuka ng'empologoma eva mu malala ga Yoludaani okulumba ekifo eky'okubeeramu eky'amaanyi; naye ndikimuddusa mangu ago; era buli alirondebwa oyo gwe ndikuza ku kyo: kubanga ani afaanana nze? era ani ananteekerawo ekiseera? era omusumba aluwa anaayimirira mu maaso gange?
Kale muwulire okuteesa kwa Mukama kw'ateesezza eri Edomu; n'ebyo by'amaliridde eri abo abatuula mu Temani: mazima balibakulula, era n'abaana abato ab'omu kisibo mazima alizisa ekifo kye babeeramu wamu nabo.
Eweema zaabwe n'embuzi zaabwe balizitwala; balyetwalira bo bennyini amagigi gaabwe n'ebintu byabwe byonna n'eŋŋamira zaabwe: era balibalangira nti Entiisa eri ku njuyi zonna.
Era Kazoli kinaabanga kifo kya bibe eky'okubeerangamu, matongo ag'olubeerera: tewaabenga muntu alibeera eyo, so tewaabenga mwana wa muntu alituula omwo.
Era ndireeta ku Eramu empewo ennya okuva mu njuyi zonna ez'eggulu, era ndibasaasaanyiza eri empewo ezo zonna; so tewaliba ggwanga abagobebwa aba Eramu gye batalituuka.
Era nditiisa Eramu mu maaso g'abalabe baabwe ne mu maaso g'abo abanoonya obulamu bwabwe: era ndibaleetako obubi, ekiruyi kyange, bw'ayogera Mukama; era ndisindika ekitala okubagoberera okutuusa lwe ndibamalawo: