Awo olwatuuka mu mwaka ogw'omwenda ogw'okufuga kwe mu mwezi ogw'ekkumi ku lunaku olw'omwezi olw'ekkumi Nebukadduleeza kabaka w'e Babulooni n'ajja, ye n'eggye lye lyonna, okutabaala Yerusaalemi n'asiisira okukyolekera; ne bakizimbako ebigo enjuyi zonna.
Awo ne bawagula ekituli mu kibuga, abasajja bonna abalwanyi ne badduka ne bafuluma mu kibuga ekiro mu kkubo ery'omulyango wakati mu babbugwe ababiri, ogwaliraana olusuku lwa kabaka; (era Abakaludaaya baali bazingizizza ekibuga) enjuyi zonna ne bayita mu kkubo erya Alaba.
Awo mu mwezi ogw'okutaano ku lunaku olw’ekkumi olw'omwezi, gwe mwaka ogw'ekkumi n'omwenda ogwa kabaka Nebukadduleeza kabaka w'e Babulooni, Nebuzaladaani mukulu w'abambowa, eyayimiriranga mu maaso ga kabaka w’e Babulooni, n'ajja mu Yerusaalemi:
N'empagi ez'ebikomo ezaali mu nnyumba ya Mukama n'entebe n'ennyanja ey'ekikomo ebyali mu nnyumba ya Mukama Abakaludaaya ne babimenyaamenya, ne batwala e Babulooni ebikomo byabyo byonna.
mu mwaka gwa Nebukadduleeza ogw'amakumi abiri mu esatu Nebuzaladaani omukulu w'abambowa n'atwala nga basibe ku Bayudaaya abantu lusanvu mu amakumi ana mu bataano: abantu bonna baali enkumi nnya mu lukaaga.
Awo olwatuuka mu mwaka ogw'amakumi asatu mu musanvu ogw'okusibibwa kwa Yekoyakini kabaka wa Yuda, mu mwezi ogw'ekkumi n'ebiri ku lunaku olw'amakumi abiri mu ttaano Evirumerodaaki kabaka w'e Babulooni mu mwaka ogw'olubereberye ogw'okufuga kwe n'ayimusa omutwe gwa Yekoyakini kabaka wa Yuda, n'amuggya mu kkomera;