Luganda Bible 2003
|
| 1 |
| Ekibuga ekyali kikubyeko abantu, nga kirekeddwawo awo ttayo! Ekyali Nnaabakyala mu mawanga, kifuuse nga nnamwandu! Ekyali ekimbejja mu bibuga, kati kye kiwa omusolo! |
| 2 |
| Mu kiro, kikaaba amaziga, ne gakibuna amatama! Mu baganzi baakyo ab'edda tewali akikubagiza. Abeetabanga nakyo, bakiriddemu olukwe kaakati balabe baakyo! |
| 3 |
| Ab'omu Buyudaaya batwaliddwa mu busibe. Bafuuliddwa abaddu, tebakyalina waabwe. Beetooloddwa abalabe, awatali buddukiro. |
| 4 |
| Enguudo ezituuka mu Siyooni kaakano zikungubaga: abaziyitamu tewali okwambuka okusinza Katonda. Emiryango gyakyo myereere. Abawala abaakiyimbirangamu, kati bakulukusa maziga. Bakabona bali mu kusinda! |
| 5 |
| Abalabe baakyo bawangudde, kiri mu mikono gyabwe, kubanga Mukama akibonerezza olw'ebibi byakyo ebingi. Abaana baakyo bawambiddwa, ne batwalibwa omulabe. |
| 6 |
| Ekyali ekitiibwa kya Siyooni, kati kifumwa bufumwa. Abakungu baakyo bali ng'ennangaazi ezitakyalina muddo, era eziweddemu amaanyi nga zigobebwa abayizzi. |
| 7 |
| Yerusaalemu ajjuukirira mu nnaku ye ne mu buyinike bwe obungi ekitiibwa kye eky'edda. Bwe yalumbibwa abalabe ne wataba bamudduukirira, abalabe be beesekera, ne bamukudaalira ng'agudde. |
| 8 |
| Yerusaalemu yayonoona nnyo, afuuse atali mulongoofu. Abaamussangamu ekitiibwa, bonna bamunyoomoola nga balaba ali bwereere. Naye yennyini alinda, ne yeebwalabwala ng'aswadde. |
| 9 |
| Obwonoonefu bwe bwalabika, kyokka n'atafaayonako ku kabi akaliddirira. Ekyo ne kimusuula wala, nga takyakubagizika. Abalabe bamuwangudde, olwo kwe kuwanjagako nti: “Zinsanze! Ayi Mukama nnyamba!” |
| 10 |
| Abalabe beenyagidde ebyobugagga bye byonna. Alabye nga bayimiridde mu Ssinzizo lyennyini, Mukama lye yagaanamu bannamawanga. |
| 11 |
| Abantu be bonna basinda nga banoonya ebyokulya. Bawaayo obugagga bwabwe, bafuneyo akamere kwe banaakuumira obulamu. Ekibuga kikaaba nti: “Ayi Mukama, tunulako gye ndi! Laba sikyaliko bwe ndi!” |
| 12 |
| Era ne kigamba nti: “Abange, temufaayo mmwe, abayitawo mwenna? Eriyo alina obulumi obwenkana buno obwange, Mukama bwe yantuusaako, ng'ansunguwalidde? |
| 13 |
| “Yaweereza omuliro okuva waggulu n'agusindika mu magumba gange. Yantega ekitimba n'ankuba wansi, n'anjabulira nga ndi mu bulumi! |
| 14 |
| “Yekkaanya ebibi byange byonna, n'abisiba ng'ekikoligo n'akinsiba mu bulago. Obuzito bwakyo bummazeemu amaanyi. Mukama yampaayo mu balabe, be siyinza kulwanyisa n'akatono. |
| 15 |
| “Mukama asekeredde abaserikale be nnina abasingira ddala amaanyi. Ansindikidde eggye okuzikiriza abavubuka bange. Asambiridde abantu bange, ng'emizabbibu mu ssogolero. |
| 16 |
| “Kyenva nkaaba olw'ebyo ne nkulukusa amaziga. Tewali ayinza kunkubagiza, wadde anzizaamu amaanyi. Abalabe bampangudde, abantu bange basigalidde awo. |
| 17 |
| “Nkanda kuwanika mikono, naye tewali ampa buyambi. Mukama alagidde baliraanwa bange bafuuke abalabe bange. Bambalira mu batali balongoofu. |
| 18 |
| “Naye Mukama mwenkanya, kubanga nze najeemera ebiragiro bye. Muwulire mmwe amawanga gonna, mutunuulire obuyinike bwange. Batabani bange ne bawala bange batwaliddwa nga basibe. |
| 19 |
| “Nayita mikwano gyange naye ne batannyamba. Bakabona n'abakulembeze bange baafiira mu nguudo z'ekibuga, nga bagenda beenoonyeza akamere kwe banaakuumira obulamu. |
| 20 |
| “Laba, ayi Mukama, obuyinike bwange, era nneeraliikirira nnyo. Omutima gwange gumenyese, nga nneenenya olw'ebibi byange. Obutemu bwe buli mu nguudo, n'okufa kwe kuli mu nnyumba. |
| 21 |
| “Bawulidde bwe nsinda ne wataba ankubagiza. Abalabe bange basanyuse olw'akabi k'ontuusizzaako. Tuusa olunaku lwe walangirira, nabo baboneebone nga nze. |
| 22 |
| “Basingise omusango olw'ebibi byabwe, obabonereze nga bw'obonerezza nze olw'ebibi byange. Nsinda olw'obuyinike, omutima gunnyongobedde.” |
|
| Gaabu Hantumya |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/luganda2003/lamentations/001.mp3
5
1