Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya
|
| 1 |
| Ekibuga ekyajjulanga abantu nga kyabuliddwa! Ekyabanga eky’amaanyi mu mawanga, nga kifuuse nga nnamwandu! Eyali kabaka omukazi ng’alina amasaza, afuuse omuddu omukazi. |
| 2 |
| Ekiro akaaba nnyo nnyini, n’amaziga ne gakulukuta ku matama ge. Mu baganzi be bonna, talina n’omu amubeesabeesa. Mikwano gye bonna bamuliddemu olukwe, bafuuse balabe be. |
| 3 |
| Yuda agenze mu buwaŋŋanguse oluvannyuma lw’okubonaabona n’okukozesebwa n’obukambwe ng’omuddu. Kati abeera mu bannamawanga, talaba kifo kya kuwummuliramu. Bonna abamunoonya bamusanga mu nnaku ye. |
| 4 |
| Enguudo za Sayuuni zikungubaga, kubanga tewali n’omu ajja ku mbaga zaakyo ezaalagibwa. Emiryango gye gyonna girekeddwa awo, bakabona be, basinda; bawala be abaweereza bali mu buyinike, naye yennyini ali mu nnaku. |
| 5 |
| Abamuyigganya bafuuse bakama be; abalabe be beeyagala, kubanga Mukama amuleeseeko ennaku, olw’ebibi bye ebingi. Abaana be batwalibbwa mu buwaŋŋanguse, bawambiddwa omulabe. |
| 6 |
| Ekitiibwa kyonna ekyali ku muwala wa Sayuuni kimuweddeko, abalangira be bafuuse ng’ennangaazi ezibuliddwa omuddo; mu bunafu, badduse ababagoba. |
| 7 |
| Mu nnaku ez’okubonaabona kwe ng’asagaasagana, Yerusaalemi ajjukira ebintu eby’omuwendo byonna bye yalinanga mu nnaku ez’edda. Abantu be bwe baagwa mu mikono gy’omulabe, tewaali n’omu amubeera; abalabe be ne bamutunuulira ne bamusekerera olw’okugwa kwe. |
| 8 |
| Yerusaalemi yayonoona nnyo nnyini, bw’atyo n’afuuka atali mulongoofu. Bonna abaamussangamu ekitiibwa bamunyooma, kubanga balabye bw’asigalidde awo; ye yennyini asinda, era akwatibwa ensonyi. |
| 9 |
| Obutali bulongoofu bwe bwali mu birenge bye; teyassaayo mwoyo ku bulamu bwe obw’ebiseera ebijja. Okugwa kwe kwali kwa kyewuunyo; tewaali n’omu amubeesabeesa. “Ayi Mukama, tunuulira okubonaabona kwange, kubanga omulabe awangudde.” |
| 10 |
| Omulabe yagololera omukono ku bintu bya Yerusaalemi byonna eby’omuwendo; yalaba amawanga amakaafiiri nga gayingira awatukuvu we, beebo be wali ogaanye okuyingira mu kuŋŋaaniro lyo. |
| 11 |
| Abantu be bonna basinda nga bwe banoonya ekyokulya; eby’obugagga byabwe babiwanyisaamu emmere, okusobola okuba abalamu. “Laba, Ayi Mukama Katonda, onziseeko omwoyo kubanga nnyoomebwa.” |
| 12 |
| “Mmwe tekibakwatako, mmwe mwenna abayitawo? mwetegereze mulabe obanga waliwo obuyinike obwenkana, obwantukako, Mukama bwe yanteekako ku lunaku olw’obusungu bwe obungi. |
| 13 |
| “Yaweereza omuliro okuva waggulu, ne gukka mu magumba gange. Yatega ebigere byange akatimba, n’anzizaayo emabega. Yandeka mpuubadde, nga nzirise olunaku lwonna. |
| 14 |
| “Ebibi byange binfuukidde ekikoligo; bisibiddwa ne binywezebwa omukono gwe. Binzitoowerera mu bulago, era bimmazeemu amaanyi. Mukama ampaddeyo mu mikono gy’abo be siyinza kugumiikiriza. |
| 15 |
| “Mukama anyoomye abalwanyi abazira bonna abaali nange; akuŋŋaanyizza eggye okunwanyisa, okuzikiriza abavubuka bange. Mukama alinnyiridde Omuwala Embeerera owa Yuda, ng’omuntu bw’asambirira ezabbibu mu lyato ng’asogola. |
| 16 |
| “Kyenva nkaaba, amaaso gange ne gajjula amaziga, kubanga tewali n’omu andi kumpi okumbeesabeesa, ayinza okunzizaamu amaanyi. Abaana bange banakuwavu kubanga omulabe awangudde.” |
| 17 |
| Sayuuni agolola emikono gye, naye tewali n’omu amudduukirira. Mukama awadde ekiragiro ku Yakobo baliraanwa be babeere balabe be; Yerusaalemi afuuse ekintu ekitali kirongoofu wakati mu bo. |
| 18 |
| “ Mukama mutuukirivu, newaakubadde nga najeemera ekiragiro kye. Muwulirize mmwe amawanga gonna, mutunuulire okubonaabona kwange; Abavubuka bange ne bawala bange batwalibbwa mu busibe. |
| 19 |
| “Nakoowoola bannange bannyambe, naye tebanfaako; bakabona bange n’abakadde b’ekibuga kyange bazikiririra mu kibuga nga banoonya ekyokulya baddemu amaanyi. |
| 20 |
| “Laba, Ayi Mukama Katonda bwe ndi omunakuwavu! Ndi mu kubonaabona, n’omutima gwange teguteredde kubanga njeemye nnyo ekiyitiridde. Ebweru ekitala kirindiridde okunsanyaawo, ne mu nnyumba mulimu kufa kwereere. |
| 21 |
| “Abantu bawulidde okusinda kwange, naye tewali n’omu ananyamba. Abalabe bange bonna bawulidde okusinda kwange; basanyukidde ekyo ky’okoze. Olunaku lwe walangirira, lubatuukeko, babeere nga nze. |
| 22 |
| “Obabonereze olw’obutali butuukirivu bwabwe bwonna, nga nze bwe wambonereza. Okusinda kwange kungi n’omutima gwange guzirika.” |
|
| Gaabu Hantumya |
https://beblia.bible:81/BibleAudio/lugandaeeee/lamentations/001.mp3
5
1